Kkooti eragidde omugagga Onebe azzibwe mu kkomera okutuusa nga June 14 lw’anaakomawo okusindikibwa mu kkooti.
Olwa leero Onebe akomezeddwawo mu kkooti kyokka omulamuzi Ann Sarah Basemera akola ku musango gwe tabaddewo bw’atyo omulamuzi John Paul Osaulo n’alagira addeyo mu kkomera.
Onebe 63, omubalirizi w’ebitabo nga mutuuze w’e Munyonyo mu munisipaali y’e Makindye avunaanibwa ogw’okutta mukazi we Immaculate Onebe omulambo n’agusuula mu kiNnya kya kazambi mu maka gaabwe e Munyonyo.
Olwaleero omulamuzi Osaulo ategeezezza Onebe nti ebisingawo ku musango gwe alinde omulamuzi aguli mitambo.
Oludda oluwaabi lugamba nti bano omusango baaguzza mu January 2021. Kyokka onebe okukwatibwa yali amaze ebbanga ng’alabikira mu mawulire ng’anoonya mukyala ng’alumiriza nti yakwatibwa olw’okuba yali muwagizi wa NUP.
Onebe avunaanibwa wamu n’omukuumi we Okiekot kyokka Ono tabadde mu kkooti.
Omulambo gw’omugenzi gwazuulibwa mu ttaka mu maka gaabwe e Munyonyo nga guvunze era gwekebejjebwa ne kizuulibwa nti ddala ye Iammculate eyali amaze ebbanga ng’anoonyezebwa.