COLLIN Akello, abadde omusawo (nnansi) abadde akolera ku kalwaliro ka Good Lord Medical Center akasingibwa mu Makerere II Zzooni afiiridde ku mulimu n’asattiza bakozi banne n’abatuuze.
Kigambibwa nti ono yafudde ggulo ku Lwokusatu ku ssaawa nga 7:00. Okusinziira ku muwandiisi wa kakiiko ka Makerere II zzooni C, avunaanyizibwa ku by’ensimbi, Paul Mufumbe, omugagga nnannyini kalwaliro kano baamukubidde essimu n’abategeeza nti ye ajja kubeerawo enkya ku Lwokutaano.
Wabula, poliisi ekutte Jolly Nalwazi gw’abadde yakwasa ogw’okuddukanya akalwaliro kano n’emutwala okumukuumira ku poliisi y’e Wandegeya.
Omulambo gw’omugenzi poliisi egutisse ku kabangali yaayo ne gutwalibwa mu ggwanika ku ddwaliro ekkulu e Mulago okuzuula ekituufu ekyamusse.
Mukwano gw’omugenzi eyasoma naye ataayagadde kumwatuukiriza linnya yagambye nti ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde, Akello yamugambako nti teyeewulira bulungi ate ng’abasawo baamwekebezze nako ne batabeerako wadde na kakyamu ke bamuzuddemu.

We bwatuukidde ku Lwokubiri, yagambye nti endabika ya Akello yabadde tekyategeerekeka ate nga munafu nga takyasobola kwekyusa wadde.
Emmanuel Ssekabazzi, abadde muganzi we, yagambye nti okweraliikirira n’okwennyika mu birowoozo ye kazaalabulwa w’okufa kwa Akello. Yategeezezza nti obulamu bwa Akello bwatandika okucankalana nga bboosi we amugobye ku mulimu ku nkomerero ya wiiki eyasembayo mu mwezi oguwedde.
Yayongeddeko nti ebyemmbi, baamugoba ng’akyabanja obukadde 2 ekyamuwaliriza okulemerawo ku mulimu okutuusa omugagga bwe yamuwandiikirayo “ceeke” ya kakadde kamu n’ emitwalo 60 ate nga yalina alina okugirinda ennaku 30 ekule, asobole okufuna ssente ezo.
Akello azaalibwa mu disitulikiti y’e Apachi. Ssekabazzi yagambye nti wadde tamulinaamu mwana, a ye yadde tanamuzaalamu mwana, alese abaana 4 be yamusanga nabo okuli Prisca Atimu, Raphael Okello, Ema Achuya ne Prince Achuya. Abaana be abadde abeera nabo era kati bali mu mikono gya Ssekabazzi.