14.6 C
Los Angeles
December 4, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Omusumba Jjumba atongozza  ekibiina ekigatta abakozi.

Omusumba w’essaza lya Eklezia ery’e Masaka, Serverus Jjumba atongozza ekibiina ekigatta abakozi ab’ekikugu Abakatoliki mu ssaza lino n’abasaba okubeera eky’okulabirako eri abaana abasoma basobole okwegomba emirimu gye bakola.

Ekibiina kiytibwa Association of Catholic Professionals, Masaka Diocese.

Omusumba yakitongolezza Kitovu ku lunaku Eklezia kwe yajagulizza olunaku lwa Yozefu omutuukirivu omuwolereza w’abakozi.

Omusumba yasabye abakozesa okuwaayo obudde balowooze ku mbeera abakozi gye bakoleramu era bw’eba teyeegombese, bakole ekisoboka okugitumbula.

Yasabye gavumenti okuwa ebibiina ebigatta omwagaanya okukola emirimu egyabitandiseaawo.

Yasabye bamusigansimbi okukomya okusaanyawo obutonde bw’ensi.

Pookino Jude Muleke yasabye abakozi okutwala Yozefu omutuukirivu okubeera ekyokulabirako.

Yennyamidde olw’enguzi mu bakozi.

Related posts

Ogw’okulebula Paasita Kayanja Kkooti eguwadde ennaku ssatu.

OUR REPORTER

Tetujja kulekulira – NSSF.

OUR REPORTER

Fortebet-Alex Muhangi soccer tour excites fortportal.

OUR REPORTER

Leave a Comment