Oussubuzi wa sipeeya w’emmotoka e Bwaise abadde avunaanibwa ogw’okubba e mmotoka mu kkooti ya Nateete Rubaga e Mengo ayongeddwako emisango emirala ebiri egy’ekuusa ku kujingirira n’okufera ebiwandiiko bya mmotoka era katono asindikibwe e Luzira n’akkirizibwa okweyimirirwa.
Ssekasi Mayambala 40, mutuuze mu Kikoni e Makerere mu munisipaali y’e Kawempe nga musuubuzi wa sipeeya e Bwaise, y’asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Adams Byarugaba n’amusomera emisango esatu okubadde ogw’okubba mmotoka, okujingirira nnamba puleeti wamu n’okufera ebiwandiiko by’ekidduka.

Ono avunaanibwa okubba emmotoka Toyota Lite Ace UBA 620X eya Hamuza Zziwa. Kigambibwa nti oluvannyuma lw’okugibba, nga December 5, 2021, yagenda mu maaso n’agikyusa langi yaayo, Chassis Nnamba, yakozesa olukujukujju n’ajingirira ebiwandiiko byayo era n’agikyusa ne nnamba Puleeti okudda ku UAT 408T.
Zziwa yategeezezza kkooti nti emmotoka eno baagibba Bulenga ku mwana gwe yali agiwadde era yagikwatidde mu Ndeeba ku musajja omu eyamutuusizza ku yagimuguza nga ye Ssekasi.
Mayambala yagambye nti ye yagigula Kamudiini wabula olw’okuba ye atunda sipeeya, yagula sikulaapu n’akolamu mmotoka emu nga yeeyo gye yatunda wabula yeegaanyi eky’okugibba era n’agamba nti yakyewunyizza nnyo okumukwata nga talina musango.

Yasabye okweyimirirwa era kkooti n’ekkiriza ku kakadde kamu ez’obuliwo wabula bwe yabadde amuyimbula, Omulamuzi Byarugaba yamukuutidde okulabikanga mu kkooti okutuusa ng’omusango guwedde era n’alagira oludda oluwaabi okuleeta obujulizi bwonna obwetaagisa omusango gutandike okuwulirwa nga July 13, 2023