23.6 C
Los Angeles
September 23, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Omusuubuzi wa sipeeya avunaaniddwa ogw’okubba emmotoka.

OMUSUUBUZI wa sipeeya w’emmotoka e Bwaise avunaaniddwa ogw’okubba e mmotoka mu kkooti ya Nateete Rubaga e Mengo wabula awonye ekkomera, akkiriziddwa okweyimirirwa ku kakadde kamu ezoobuliwo.

Ssekasi Mayambala 40, mutuuze w’omu Kikoni e Makerere y’asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Adams Byarugaba are amusomedde ogw’okubba ekidduka ekitakkirizibwa mu mateeka.

Ono avunaaniddwa okubba emmotoka Toyota Lite Ace UBA 620X eya Haruna Zziwa.

Kigambibwa nti oluvannyuma lw’okubba mmotoka eno nga December 5, 2021, yagenda mu maaso n’gikyusa langi yaayo ne Chassis Nnamba.

Haruna ategeezezza kkooti nti emmotoka eno baagibba Bulenga ku mwana gwe yali agiwadde era yagikwatidde mu Ndeeba ku musajja omu eyamutuusizza ku yagimuguza nga ye Ssekasi.

Mayambala yategeezezza nti ye yagigula Kamudiini wabula olw’okuba ye atunda sipeeya, yagula sikulaapu n’akolamu mmotoka emu eyo gye yatunda wabula yeegaanyi eky’okugibba eno era n’agamba nti yakyewunyizza nnyo okumukwata nga talina musango.

Ono ng’ayita mu Puliida we Barnabas Kamya, yasabye okweyimirirwa era kkooti n’ekkiriza wabula bwe yabadde amuyimbula, Omulamuzi Byarugaba yamukuutidde okulabikanga mu kkooti okutuusa ng’omusango guwedde era n’agwongerayo okutuusa nga April 24, 2023 guddemu.

Related posts

Poliisi ekubye omu amasasi ng’ekwata abasudde emisanvu.

OUR REPORTER

Abadde agenze okuloopa bazadde be azaalidde ku police

OUR REPORTER

Omusawo w’ekinnansi e Wakiso atemuddwa mu ssabo lye.

OUR REPORTER

Leave a Comment