OMUVUBUKA agambibwa okubba emipiira gy’emmotoka gibalirirwamu ssente ezisoba mu bukadde 60 asindikidwa mu kkomera e Luzira oluvannyuma lw’okwegaana omusango.
Isa Kabanda abeera ku Miracle Plaza ku luguudo lwa Mengo Hill Road nga akola gwa kulongosa na kukuuma ku ggeeti y’asimbidwa mu kkooti ya LDC e Makerere mu maaso g’omulamuzi Martins Kirya ne bamusomera omusango gw’obubbi.

Kigambibwa nti wakati wa December 2022 ne March 2023, Kabanda n’abalala abatannaba kukwatibwa babba emipiira gy’emmotoka egy’ebika ebyenjawulo nga gibalirirwamu ssente 60,400,000 nga gyali gya Negasi Abraha Tekle.
Kabanda omusango yagwegaanyi omulamuzi Kirya n’amusindika mu nkomyo okutuusa nga May 17, 2023 lw’anaddizibwa mu kkooti okuwerennemba n’omusango ogumuvunaanibwa.