Omuvubuka abase ejjambiya n’atemaatema kojja we n’amutta, entabwe evudde ku shilling 12000 z’abadde amubanja.
Ettemu libadde ku kyalo Kityaba mu muluka gw’eBugomola e Lwabenge mu district y’eKalungu.
Gwebasse ye Kuteesa Jimmy wa myaka 47 amusse ye Ndeeze Akram oluusi y’eyita Manuel.

Abatuuze b’ekitundu abakulembeddwamu Kiyimba Paul bagamba nti Ndeeze agenze okubanja kojjawe ensimbi, wabula Kojja n’amugamba nti abadde tazirinaawo awo kalunsambulira watandikidde.
Olumaze okumutta neyetwala ku police e Miwuula neyewaayo nga bwasse omuntu.
Oluvannyuma police ye Kalungu eyitiddwa neggyayo omulambo negutwala mu ggwanika e Masaka.