17.4 C
Los Angeles
December 7, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Omuvubuka atemyetemye mungaziwe n’amukutulako omukono.

OMUVUBUKA ow’ebbuba atemyetemye muganziwe mu mbugo n’amukutulako n’omukono.
Omukazi abadde yaakaganza omuvubuka emyezi ebiri gyokka emagombe yasimbyeyo ekitooke bw’amukkakkanyeeko n’amutema okukkakkana ng’omukono tasigazza.
Jennifer Nakkazi 37, omutuuze ku kyalo Nabiyagi ekisangibwa mu ggombolola y’e Kyampisi mu disitulikiti y’e Mukono.Yatemeddwa muganziwe Paul Watenga 27, olw’okumuteebereza okubaliga.
Kigambibwa nti abaagalana bano oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya nga Watenga alumiriza Nakkazi okubaliga, yamukkakkanyeeko ku ssaawa nga 2:00 ez’ekiro n’amutema mu mbugo, emikono gyombi, amagulu, ku mutwe n’ebibegabega.
Okutuuka mu mbeera eno, Watenga yasoose kusanga omusajja eyategeerekeseeko erya Isaac ng’ali waka nga kigambibwa nti yabadde enonye nkumbi ye gye yalekawo ne batandika okuyomba. Obudde bwe bwazibye Watenga kwe kuggyayo ejjambiya n’atema Nakkazi oluvannyua n’adduka.
Watenga abadde mukozi mu ssamba y’amajaani esangibwa e Kanganda mu muluka gw’e Kabembe mu ggombolola y’e Kyampisi. Ono yagguddwaako omusango gw’okugezaako okutta omuntu oguli ku fayiro nnamba

SD:30/22/03/2023 ku poliisi y’e Naggalama, era batandise okunoonyereza.
Nakkazi eyasangiddwa mu ddwaalairo e Naggalama ku Lwokusatu ng’ali mu bulumi yategeezezza nti, Watenga ku Lwokubiri yasiiba ayomba ng’amulumiriza obwenzi, mu kiro n’amutema.
“Yantemye n’ankutulako omukono ogwa kkono, ogwa ddyo n’agukutula amagumba n’amagulu yagatemye ne gamenyekera mu bisambi. Yandese ngudde mu kitaba ky’omusaayi n’adduka era nagenze okudda engulu mu kiro nga ndi mu nnyumba sirina buyambi,” bwe yalombozze.
Nakkazi yagambye nti Watenga yakkakkanye ne ku mutabaniwe ow’emyaka ebiri naye n’amutema mu mutwe.
Okusinziira ku mwannyina wa Nakkazi, John Mukasa, bwanamukulu w’ekigo ky’e Nakibano, Fr. Simon Peter Ssessanga ye yadduukiridde n’amutwala mu ddwaaliro ku makya.
Sr. Prossy Nafula nga musawo mu ddwaaliro e Naggalama yannyonnyodde nti Nakkazi we baamutuusirizza mu ddwaaliro ng’aliko kikuba mukono oluvannyuma lw’okumala ebbanga eddene ng’atemeddwa ng’omusaayi gwabadde gumuweddemu. Oluvannyuma lw’okumuwa obujjanjabi, baamwongeddeyo mu ddwaaliro ekkulu e Mulago.
Amyuka omwogezi wa poliisi Luke Owoyesigyire yategeezezza nti poliisi etandise okuyigga Watenga.

Related posts

BANG! KIRA ENGINEER JOKINGLY BETS 1K, WINS 125M.

OUR REPORTER

BULIJJO OBADDE WEBUUZA EBIBUUZO BINO WAMMANGA

OUR REPORTER

OKUSIIBULUKUSA ABASIIBI OFUNA EMPEERA EWA ALLAH

OUR REPORTER

Leave a Comment