OMULAMUZI wa kkooti ya LDC e Makerere Martins Kirya asindise omuvubuka agambibwa okubba ssente mu kkomera e Luzira oluvannyuma lw’okwegaana omusango.
Denis Twesigye (18) omutuuze w’e Makerere mu Kikumi Kikumi mu Munisipaali y’e Kawempe mu Kampala nga akola mu ssaluuni y’asimbidwa mu maaso g’omulamuzi Kirya n’asomerwa omusango gw’obubbi.

Kigambibwa nti mu mwezi gwa March, 2023, Twesigye yabba ssente emitwalo 45 nga gyali gya Emmanuel Lutaaya.
Twesigye omusango yagwegaanyi era omulamuzi Kirya n’amusindika mu kkomera e Luzira okutuusa nga May 17, 2023 lw’anaddizibwa mu kkooti okuwulira omusango ogubavunaanibwa.