Nnamukadde wemyaka72 assattira lwa muzzukulu we eyamubulako mu December w’omwaka oguwedde ky’agamba nti kimumazeeko emirembe kubanga kireesewo enjawukana mu baana be.
Efrance Nankinga Musoke omutuuze w’e Namwezi Natonko ekisangibwa mu ggombolola y’e Goma mu disitulikiti y’e Mukono yasobeddwa eka ne mu kibira olw’omuzzukulu okubula.
Eyabula ye Joshua Ssegujja 12, nga yali asoma kibiina kyakusatu ku St. Pius P/S nga we yabulira yali abeera ne ssenga we Deeziranta Nalebe e Masajja mu diviizoni y’e Makindye.
Nankinga annyonnyola nti, okuva Ssegujja lwe yabula abaana be baatandika okwesalamu, enkwatagana yafuuka ntono wabula ebigambo ne biyitirira nga buli omu ayogera ky’asanze.
Nalebe yagambye nti omwana ono ye yali asinga okumutegeera era nga tamulinaamu buzibu, wabula agamba nti yali alese amulagidde okwoza engoye ze yali akubiddemu omupiira eggulolimu.

Ateebereza nti, Ssegujja yandiba nga yali yeeyunga ku bibinja ebikyamu ebikung’aanya ebikyupa mu kitundu nga tamanyi nti kubanga bwe yamala okubula, abamu ku baliraanwa ne bamutegeeza nga bw’abadde tasiiba waka.
Baggulawo omusango gw’okubulawo kwa Ssegujja ku poliisi y’e Kikajjo e Masajja ku Sdref 23/29/12/2022 naye talabikanga.
Agamba baafuba okumulanga e Masajja n’ebitundu ebyetooloddewo, yatuukako ne ku ssomero gye yali asomera n’abuuza oba waliwo eyali amulabyeko naye nga buteerere.
Ssentebe atwala ekyalo Jjajja wa Ssegujja gy’abeera Ndawula Nsubuga, yategeezeza nti Nnamukadde oluvannyuma lw’okumutegeeza wiiki ewedde nti omuzzukulu yabula baasitukiddemu nga ekitundu okulaba nga bamuyambako okumunoonya.
Ndawula asabye ab’obuyinza okukola ekisoboka okulaba nga Ssegujja azuulibwa.