Omwami wa Ssabasajja Kabaka mu ssaza lye Bugisu atuuziddwa okulamulirako Kabaka ssaza lye lino. Omukolo guno gubadde ku kasozi Gangama mu kibuga ky’e Mbale mu maka ga Semei Kakungulu. Atuuziddwa ye Rashidi Kibowa Nsubuga ng’azze mu bigere by’omugenzi Kato Hussein Ggaliwango eyali omwami w’essaza lino eyafa mu 2019. Essaza lino lyatandikibwa ne Semei Kakungulu eyali omutabaazi wa Ssekabaka Mwanga. Lino litwaala Bugisu, Teso, Bukedi ne Sebei nga likulemberwa n’omwami wa Kabaka, omumyuka wa Katikkiro asooka Twaha Kigongo Kawasi ye yatuuzizza Rashidi Kibowa Nsubuga ku bwami buno, era n’amukwasa ebikola okuli eŋŋoma ssaagala agalamidde, effumu ne ngabo ssaako okumutuuza mu ntebe mwagenda okulamulirako abantu ba Kabaka. Mu kwogerako eri abantu ba Kabaka omumyuka wa Katikkiro Twaha Kigongo Kawasi yasabye omwami atuuziddwa okugatta abantu ba Ssabasajja Kabaka bonna awatali kulondobamu wadde okusosola kasita baba nga bassa ekitiibwa mu bwa Kabaka, era yamukubirizza okuwuliziganya ne baakulembera era okuba omugonvu eri Ssabasajja Kabaka n’eri abantu be, era yabasabye Abaganda abawangaalira mu Bugisu okukulembeza empisa za Buganda n’okusoosowaza olulimi Oluganda ne nnonno zaffe wano mwagazise abalala ebya Buganda era yasabye okujjumbira oluwalo. Ate bbo abaana n’abazzukulu ba Buganda abeera e Bugisu baasabye katikkiro okusaba Ssabasajja Kabaka asiime azimbe ssettendekero wa Muteesa University ettabi lye Bugisu nga lyakuyamba okusomesa n’okutumbula olulimi Oluganda ne nnonno wamu no buwangwa bwa Buganda kubanga eno tuli mu mawanga magatte olulimi lwetaaga kusomesebwa nnyo okulukuuma, ne mirimu gye mikono kubanga gavumenti ezimbye amakolero mangi mu Mbale abantu ba beene bafune emirimu.

previous post