Buikwe
Polisi e Lugazi etubidde n’omwana eyasulidwa ku kyalo Madda mu gombolola y’e Kawolo mu disitulikiti y’e Buikwe era kigambibwa nti maama w’omwana ono tanategerekeka naye abamu ku bamulabyeko banyonyodde polisi nti mukyala alina tattu ku mikono gye.
Ono yamuziziise bulungi emabega w’e kisswa okulirana essamba lye bikajjo bya mehta emabaali wo lugudo oluva e Lugazi okudda e Kigenda,era omuyiise yawulidde miranga naduka nga’lowoza nti oba musambwa ekyamuwaliriza okutemya ku bantu abaliranyewo,kyoka bagenze okudda ne bane betegerezze nga mwana yali okukabira mukifo ekyo.
Bano batemeza ku bobuyinza nebamutwala ku polisi e Lugazi era okusinzira ku Hellen Butotto omwogezi wa polisi mutundutundu lya sezibwa akakasiza ensonga eno navumirira ekikolwa kino ekya bakyala okusula abaana.
Butotto ayongedde nasaba abantu abalina akakwate oba amawulire kumuntu abadde nomwana nga tebakyamulaba naye okutemya ku polisi eri okumpi oba okugya e Lugazi basobole okuzula abenganda ze.