Omwoleso gwa CBS PEWOSA trade fair ogwa 2023 gutandika nga 5 okutuuka nga 11 April mu Lubiri e Mengo.
Omwoleso guno gugendererwamu okwongera akatale ku bintu ebikolebwa abantu ba Kabaka, okulwanyisa obwavu,okukuuma obumu mu bantu, nokutumbula ebyenfuna by’eggwanga .
Enteekateeka z’omwoleso zitongozeddwa ssentebe w’olukiiko olukulembera CBS Nsindikanjake Omukungu Balaaka David , ku mukolo ogubadde ku kizimbe Masengere e Mengo.
Omuk. Bbalaka agambye nti enteekateeka zonna zikoleddwa bulungi era nasaba abantu ba Ssabasajja Kabaka okugwettanira wamu n’okusisinkana ebitongole ebyenjawulo okuva mu government eyawakati ebigenda okubangula abantu mu byebakola ,omuli NIRA ,URA,Ebyobulamu ebyenjigiriza nebirala.

Ssenkulu wa Radio CBS Omukungu Michael Kawooya Mwebe ategezeza nti munteekateeka eno baluubirira okufunira abantu ba Ssabasajja Kabaka obutale mwebatunda ebintu banna CBS PEWOSA byebakola ate nga byongeddwako omutindo.
Sawulo Ssegawa Katumba Omuteesitesi omukulu ow’omwoleso agambye nti ennaku 7 omwoleso zegunaamala, abantu bakuyigirizibwa ebintu nkumu.
Mulimu omusomo gw’okubangula abasuubuzi ku nsonga nyingi omuli omusolo ,Amateeka nebirala ng’abasubuzi abanajetabamu bakuyingirira bwereere, mulimu ebivvulu by’abayimbi mu biseera by’amazuukira, wamu n’ekifo ekisanyukirwamu eky’abaana abato.
Bannabibiina bya Cbs PEWOSA mu Ggwanga nga bakiikiriddwa Nampijja Victoria amanyiddwa nga “Food Ambrella” yayanzizza Ssabasajja Kabaka olw’enteekateeka eno, nti kubanga esitudde embeera z’abakyala n’abantu abalala, era nga kati ebintu byebakola bitundubwa kukatale kensi yonna.