Omwoleso gwa Cbs PEWOSA Nsindika Njake ogwa 2023 guggalwawo leero, era nga namumisa o’okubiri lwagenda okuwangula pikipiki kapyata.
Okuyingira mu mwoleso abakulu basasula shs 5000/= era ticket eyingira y’essibwa mu bululu obuwabguzi.
Omwoleso gubumbujjira mu Lubiri e Mengo.
Pikipiki eyasoose yawanguddwa omukyala Harriet Sserumaga.

Godfrey Male Busulwa avunanyizibwa ku kubunyisa Cbs fm mu bantu b`Omutanda, agambye akalulu akasembayo kakukubwa leero ku Tueaday ku ssaawa munaana, ng’omwoleso ogumaze wiiki nnamba gufundikibwa.
Mu ngeri yeemu aboolesi bongedde okusala ku bbeeyi y’ebintu ebiri mu mwoleso.
Omwoleso guno guvujiriddwa NIRA, IRA, URA, Simba Automotive, Centenary Bank, PeaCock, Piki piki haojue, Faith Agro Input, USSIA, Cbs fm, wamu ne Bbs Terefayina.