17 C
Los Angeles
September 25, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Owa Boda Boda gwe babako pikipiki bamusindise Luzira.

OMUGOBA wa Boda-Boda omulagajjavu omusaabaze gwe yalimbalimba n’amugulira eky’emisana oluvannyuma n’amusaba ekisumuluzo n’amutwalako pikipiki ya mukama we asindikiddwa ku limanda e Luzira nga bw’alinda engeri gye yazzaamu omusango.

Sam Male 18, mutuuze w’e Konge mu Wakiso y’asimbiddwa mu kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo omulamuzi Amon Mugezi n’amusomera ogw’okubba ekidduka gw’akkiriza nga kati alinze kibonerezo.

Kigambibwa nti Adam Kyeswa yawa Male Pikipiki UFF 814T abeere ng’agivuga bw’amuleetera ssente wabula bwe waayitawo akaseera n’atandika okugiwa abantu abalala okugivuga.

Ng’enkola ya ba Boda-Boda, waliwo omusajja eyamupangisa okumala ennaku ssatu ng’amuvugako wabula nga August 17, 2023 e Busega baagenda mu kirabo ky’emmere okufuna ku ky’okulya era omusaabaze ono yeeyama okumugulira naye baba bakyalya, omusajja n’amugamba nti engeri gwe gy’okyala mpa ku kisumuluzo nfune ku bintu byange wano nkusangewo era n’abimuwa.

Olw’okuba yali amuvuze okumala ennaku ssatu, yamwesiga ye n’asigala ng’alya mmere nga bw’alinda wabula n’okutuusa kati omusaabaze takomangawo pikipiki yagenda nayo.

Olumaze okumusomera bino nga bwe byali Male yategeezezza kkooti nti pikipiki si ye yagibba wabula baagimutwalako mu ngeri eyo era kkooti n’ekitwala nti omusango agwegaanyi n’asindikibwa ku limanda e Luzira okutuusa nga September 28, 2023 okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Related posts

Olubiri e Mmengo lwawuumye nga Kabaka asimbula abeetabye mu misinde gy’amazaalibwa ge aga 2022.

OUR REPORTER

FORTEBET ROCKS BWERA, KASESE, MPONDWE, HIMA WITH ‘A MILLION GIFTS’.

OUR REPORTER

Paapa Francis asiimye Uganda.

OUR REPORTER

Leave a Comment