OMUVUBUKA wa Bodaboda agambibwa okubba essimu ku mukazi asindikiddwa mu kkomera e Luzira oluvannyuma lw’okusimbibwa mu kkooti ne yeegaana omusango.
Moses kusiima (25) omutuuze w’e Nakulabye mu munisipaali y’e Lubaga y’asimbidwa mu kkooti ya LDC e Makerere maaso g’omulamuzi Marion Ninsiima ne basomerwa omusango gw’obubbi.

Kigambibwa nti nga September 23, 2022 mu zooni ya Makerere A, mu munisipaali y’e Kawempe, Kusiima yabba essimu ya Amina Nakafeero.
Kusiima omusango yagwegaanyi omulamuzi Ninsiima n’amusindika mu kkomera e Luzira okutuusa nga May 8th 2023 lw’anaakomezebwawo mu kkooti okuwulira omusango ogubavunaanibwa.