Ab’ekitongole ekikessi ekya Chieftaincy of Milliary intelligence (CMI) bakyanoonyereza ku mujaasi wa UPDF agambibwa okukuba owa bbooda amasasi n’amuttirawo.
Sgt Abdul Ssali (48), mutuuze w’e Namsanga mu Wakiso ng’akola bwa ddereeva mu kitongole kya UPDF avunaanibwa okutta Ronald Waliggo yabadde akomezeddwaawo mu kkooti okuwulira okunoonyereza we kutuuse.
Omuwaabi wa gavumenti Lt. Alex Mukwana ategeezezza kkooti nti fayiro ya Ssali yazzibwayo ku kitebe e Mbuga okwongera okufuna obujulizi obumulumika.

Mukwana agambye nti kino kijja kubayamba okutambuza obulungi omusango ng’okuwulira obujulizi kutandise.
Ssentebe wa kkooti Brig Gen Freeman Robert Mugabe yalagidde azzibwe mu kkomera okutuusa nga May 30,2023 lw’anadda okuwulira okunoonyereza kw’oludda oluwaabi we kutuuse.
Oludda oluwaabi lugamba nti nga November 15, 2022 ku Kawanda Secondary School e Nakyesanja mu Wakiso , Ssali n’ekigendererwa eky’ettima era ekirowoozeddwaako yakuba Ronald Waliggo amasasi agaamuttirawo.