24.2 C
Los Angeles
September 24, 2023
Image default
AmawulireEditor's PicksFeatured

owa UPDF ne banne 3 bakwatiddwa mu bubbi

Police mu Kampala n’emiriraano eggalidde abantu basangiddwa ne waya z’amasannyalaze zebabadde bakwese mu bitundu bye Kyengera Wakimese Zone mu district ye Wakiso.

Abakwate kuliko Omuserikale wa UPDF Baryahebwa James ow’ekibinja kya UPDF ekisooka ekye Kakiri,Alinitwe Varensio owe Wakimese ,Kamadi Giberya  omutuuze e Gayaza ne Kambira Joseph.

Bano okukwatibwa kiddiridde abatuuze okutemyako ab’ebyokwerinda nti oluvannyuma lw’okubalaba nga baliko waya z’amasannyalaze zebayingiza munju.

Kizuuse nti mmotoka kika kya Caldina namba UAP 947/W ebadde evugibwa munnamagye Baryahebwa yeebadde etambuza emmaali okugiggya e Kyengera okutuuka mu Kisenyi mu Kampala gye babadde bagitunda.

Abakwate bategeezezza police nti ebikozesebwa mu kusasaanya amasannyalaze baabibba mu bitundu bye Kasangati ku kyalo Kyijjudde.

Omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango alabudde nti tebagenda kussa mukono ng’ebikolwa by’okibba waya z’amasannyalaze bigenda mu maaso , naalabula bonna ababirimu nti baakutwa
alibwa mu mbuga z’amateeka ssinga bakwatibwako.

Related posts

Eyafera munne obukadde 25 asindikiddwa Luzira

OUR REPORTER

YINGINIYA E KASESE ASIBYE KU BUTIIMU OBUTONO N’AKUBA OBUKADDE 201

OUR REPORTER

Minisita Kiyimba asabye abantu ba Buganda okwettanira obwegassi .

OUR REPORTER

Leave a Comment