23.6 C
Los Angeles
September 23, 2023
Image default
AmawulireEssanyuFeatured

Owek. Bwanika akuutidde abazadde okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe.

Ssaabawolereza era minisita wa Buganda owa gavumenti ez’ebitundu Owek. Christopher Bwanika asabye abazadde okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe eri abaana babwe ku lw’ ebiseera bya Buganda eby’omu maaso.

Okusaba kuno, Ssaabawolereza Christopher Bwanika akukoledde mu Bulange e Mmengo bw’abadde atikkula Oluwalo olusobye  mu bukadde 8 okuva mu bantu ba Kabaka okuva e Buluuli ne Kyaddondo .

Owek. Bwanika  bano abakubye akaama okutwala ebyobulamu nga ekikulu beekume nga balamu  basobole okukola bekulaakulanye.

Ono era yeebazizza abaleese oluwalo olw’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe eri Nnamulondo era nabasaba bulijjo okujjumbira enteekateeka za Buganda ez’enjawulo ezireetebwa okuyimusa embeera zabwe.

Oluwalo luno luvudde mu ggombolola satu okuva e Buluuli okusobola okuyambako Obwakabaka ku nzirukanya y’emirimu nokutuusa empeereza ku bantu ba Kabaka.

Omumyuka Asooka owa Kimbugwe, Esther Ssebyala Nakyeyune alambuludde ebimu ku bisoomozo byebasingaana e Buluuli wabula nawera  okusigala nga baweereza Beene awatali kumutiirira.

Obwakabaka buzze bukubiriza abantu ba Kabaka okunnyikiza ennono n’obuwangwa mu miti emito era okuteeka ekiragiro kino mu nkola banna Kyaddondo bakiikiriddwa abayizi okuva mu masomero ag’enjawulo agali mu kitundu kino.

Related posts

Omusango teguvunda!

OUR REPORTER

Parliament esiimudde ezimu ku nnyingo z’amateeka ezikontana ne Ssemateeka.

OUR REPORTER

KABADDI KI AKAZANYIBWA ku kibira kye NAMYOOYA?

OUR REPORTER

Leave a Comment