23.6 C
Los Angeles
September 23, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Owek. Hajji Amis Kakomo  yasabye Bannayuganda okwekwata obulimi n’obulunzi.

Bananayuganda baasabiddwa okwettanira obulimi n’obulunzi kibayambe okulaakulana n’okwegobako obwavu naddala nga balima emmwaanyi n’okuziriikiriza.

Okusaba kuno kukoleddwa Minisita omubeezi Ow’ebyobulimi, Ow’ obusuubuzi  n’Obweggasi mu Buganda, Owek. Hajji Amis Kakomo bweyabadde atikkula  amakula okuva mu Bannakyaggwe ne Bulemeezi mu Lubiri e Mmengo ku Mmande.

Minisita Kakomo yategeezezza nti ekiseera kituuse obulimi n’obulunzi abantu babitwale ng’emirimu gy’obuvunaanyizibwa era bagwenyigiremu era beegatte okusobola okulaakulanira awamu nga benyigira mu nteekateeka ez’enjawulo Buganda zereeta.

Katikkiro w’ebyalo bya Kabaka, Omukungu Moses Luutu, yasabye abazadde okwongera amaanyi mu kugunjula abaana ab’obuwala  ekyokuyambako okukendeeza ku mpisa ezisebengeredde kwossa nenyambala etasaanidde mu baana.

Abàami b’eggombolola  bayanjudde alipoota omuli ebibasoomoza nebituukiddwako era nebawera okusigala nga batwala emirimu egyabakwasibwa mu maaso.

Abaleese Amakula mulimu  eggombolola ya Mutuba VII Kawolo okuva e kyaggwe ne Mumyuka Nsege Butuntumula era mubireeteddwa mulimu emmere, ebisolo , ebibalala nebintu ebirala.

Related posts

 POLIISI EGUDDE KU MULAMBO GWO MUWALA EYATTIDDWA NASUULIBWA MU KIBIRA

OUR REPORTER

Buganda ne UNDP baweze okulwanyisa Ebola

OUR REPORTER

7 bavunanibwa gwa buffere.

OUR REPORTER

Leave a Comment