Minisita omubeezi ow’obulimi obusuubuzi n’obwegassi mu Buganda owek.Hajji. Amisi Kakomo afalaasidde abantu ba Kabaka okunyweza ensonga Ssemasonga era beettanire obweggasi bweba baagala okugenda mu maaso.
Obubaka buno, Owek. Kakomo yabuweeredde ku mukolo kwakiikiridde Katikkiro okutikkula Oluwalo lwa bukadde obusobye mu 15 okuva mu bantu ba Kabaka abavudde mu ssaza Kyaddondo .
“Ensi Buganda okugizza ku kitiibwa kyaayo nga bwekyali okuva edda kikwetaagisa okunyweza ensonga Ssemasonga 5. Mbakubiriza okwettanira obweggasi nga Baffe bweyazeemu okutulagira. Mukiseera kino nga tulina okusomooza okungi twetaaga okukolera awamu n’okuwuliziganya nga essira tuli teeka kukendeeza ebyo ebitunyiga naddala obwavu n’enjala, ” Owek. Mayiga bweyategeezezza.
Ono yasabye abakyalina ettaka okulikuuma nga balimirako emmwaanyi n’emmere kiyambe abantu ba Kabaka okubeera obulungi.
Owek.Kakomo era yabasabye okunyweza obumu beewala enjawukana mu byobufuzi neddiini mu buweereza okuzza Buganda ku ntikko neggwanga okugend mu maaso.
Ye Minisita omubeezi owa Gavumenti ez’Ebitundu Owek. Joseph Kawuki yakubiriza abakulembeze n’ Abaami ba Kabaka okulwana okunnyikiza enteekateeka z’Obwakabaka mu bantu okulaba nga bongera okuzetanira.
Abaami b’Eggombolola zino bategeezeza nti nga bakulembeza obumu basobodde okubaako byebatuukako mu bitundu byabwe newankubadde baliko okusoomozebwa okwebasanga nga obukubagano n’okwerumaruma mu bakulembezemu gavumenti eyawakati.