17 C
Los Angeles
September 25, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Owek. Katikkiro yasabye gavumenti eteekewo obwerufu mu nteekateeka zaayo bweziba zinakola.

Katikkiro Charles Peter Mayiga yawadde gavumenti amagezi okuteekawo obwerufu n’obulambulukufu ku nteekateeka ez’enjawulo zereeta okuggya abantu mu bwavu.

Amagezi gano Katikkiro Mayiga yagaweeredde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu bweyabadde bannakibiina ki NRM abazze okumwanjulira enteekateeka ya Parish Development Model ey’okuggya abantu mu bwavu gavumenti ng’etandikira ku miruka abakulembeddwamu atwala ekibiina mu Buganda Godfrey Kiwanda Ssuubi.

“Parish Development Model n’enteekateeka za gavumenti endala bwezinaaba ez’okukola zirina kukolebwa mu bwerufu. Bwezinaaba tezikolebwa mu bwerufu abantu nebalowooza nti mulimu ababale abaziganyulwamu tebajja kuziwagira,” Owek. Mayiga bweyategeezezza.

Bano yabasabye okwewala obulyake mu nteekateeka za gavumenti zikole ekituufu ekyaziweereddwayo okukola kiyambe okuteekawo obwesige mu bantu.

“Abantu nga  beekolera, teri gavumenti esobola kuwa bantu ssente nebagaggawala tekisoboka ebeera yaziggye wa!! Naye bwolima emmwaanyi nga omukulu Galabuzi bwazirima olwo gavumenti esobola okukwasizaako kubanga balandiza kibaze, baseesa gwaakka.”

Owek. Mayiga yalaze nti ekizibu ekisinga mu Yuganda essaawa eno bwe bwavu obuli mu bantu obutuusizza abantu okuggwa mu mmere  ku mikolo basobole okufuna eky’okulya ekireetedde abazadde okusuula obuvunaanyizibwa bwabwe.

“Abawagizi bammwe bwebanalowooza nti mujja kubawa ssente bagaggawale bajja kufa nga baavu.Ate bwemutegendereze obwavu bwebunaleeta obusungu bw’abantu,” Owek. Mayiga bweyategeezezza.

Katikkiro Mayiga yasabye abali mu buyinza baleke abantu beekolere kuba balina obumanyirivu n’amaanyi okukyuusa obulamu bwabwe bakulaakulane kubanga mazzi masabe tegamala nyonta.

Katikkiro Mayiga yategeezezza nti Obwakabaka bwa Buganda tebusosola mu nzikiriza za byabufuzi wadde amadiini kati omuntu abeera nga ateeka ekitiibwa mu Buganda ne Ssaabasajja Kabaka  nasaba abantu ba Kabaka okukomya okutwala eby’obufuzi nga akazannyo.

Minisita avunaanyizibwa ku by’Obuwangwa, Embiri n’Olulimi Oluganda, Owek. David Kyewalabye  Male yasabye enteekateeka eno etuusibwe wansi mu bantu baleme kuwa bantu nsigo mu budde bwa musana.

Mukwogera, Ssentebe Kiwanda Ssuubi, yategeezezza nti obwavu bukyali bungi mu Buganda wabula nasiima enteekateeka za Buganda okukyuusa embeera z’abantu nga bayita mu kukola obutaweera nalaga nti nabo nga gavumenti basitukiddemu.

Ye akulira enteekateeka ya Parish Development Model, Denis Ssozi Galabuzi, yannyonnyodde nti eno yemu ku nkola zebaagala okweyambisa oluvannyuma lw’okuzuula nti enteekateeka ez’enjawulo eziteereddwawo siremeddwa okutuukiriza ebigendererwa byazo.

Related posts

The Best Exercise to Do If You Have Tight Hips

vega

Eyabba obukadde 45 eza mukama we  agasimbaganye n’omulamuzi.

OUR REPORTER

Poliisi ennyuludde omulambo gw’ateeberezebwa okutemulwa mu mwala e Nalukolongo.

OUR REPORTER

Leave a Comment