21.6 C
Los Angeles
September 26, 2023
Image default
AmawulireEssanyuFeatured

Owek. Kawaase alambudde ab’e Mubende ku ebola.

Obwakabaka bwa Buganda busabye government okwongera okukozesa obukulembeze obw’ennono okutumbula ebyobulamu mu ggwanga lyonna.

Okusaba kuno kukoleddwa omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda, era avunanyizibwa kunzirukanya y’emirimu ne  technologiya mu Bwakabaka Owek Prof Hajji Twaha Kawase Kigongo.

Abadde ku kitebe kya district e Mubende ng’asisinkanyemu akakiiko akalwanyisa Ebola akakulemberwa omubaka wa president e Mubende Rosemary Byabashaijja okutema empenda ku ngeri y’okukolera awamu okutangira ebirwadde.

Owek Kawase Kigongo ,alambudde ne ddwaliro lya Mubende Regional Refferal Hospital ,ne yebaza abasawo olw’omirimu gwebakoze okutaasa obulamu bw’abantu.

Omubaka wa president e Mubende Rosemary Byabashaijja abuulidde Katikkiro nti kati okusoomozebwa kwebakyalina kwekwabamu ku bannaddiini n’abasawo b’ekinnansi abakyabuguyaza abantu nokutuusaa kati nti basobola okubasabiira ne bawona ebirwadde.

Dr.Daniel Kyabayinze akulira Public Health mu ministry ye byobulamu atendereza obwakabaka bwa Buganda bwagambye nti enkolagana gyebalina nabo ebayambye okutuusa obuwereza  bwabwe ku bantu.

Akolanga akulira  eddwaliro lya Mubende Referral hospital Dr Waboona George William  asabye ebitongole ebitali bimu okwatirako abantu abaawonye ekirwadde kya Ebola ,nga bibaawa ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo, nokubakwatirako mu kukyusa ebyenfuna byabwe ebyagotaana.

Ssentebe wa district ye Mubende Muhereza Micheal Ntambi asabye obwakabaka okubaddizawo University ya Muteesa Royal University mu kitundu kyabwe ,kuba yali ngabo nnene mukukyusa ebyejigiriza.

Owek Kawaase atuuseko ne wabwana bukulu ku kerezia ya Our Lady of Fatimah Mubende Rev Fr Dr. Emmanuel Mwerekande, era wabaddewo okusabira n’okwebaza Katonda olw’abalwadde ba Ebola ne family zabwe olw’okubawonya ekirwadde.

Ensisinako enno yetabiddwamu Ssaabawolereza wa Buganda ,era minister wa government ezebitundu Owek Christopher Bwanika, ne Luwekula Immaculate Nantaayi n’abalala.

Related posts

Omulangira Wasajja asabye abazadde bayigirize abaana Ennono n’Obuwangwa

OUR REPORTER

Nagenda afudde yagaana ekkanisa okumusabira.

OUR REPORTER

Zaake ssente za Sipiika Among zeyamuweereza obujulizi bulaga nti yali azimanyiko.

OUR REPORTER

Leave a Comment