Minisita w’ Olukiiko, Kkabineeti , Amawulire N’ Abagenyi, Noah Kiyimba akubirizza abazadde okwongera okulambika abavubuka ku kawuka ka Mukenenya n’engeri gyebasobola okuketangiramu okusobola okutaasa eggwanga ery’enkya.
Obubaka buno Minisita Kiyimba abuwadde atikkula bnanakyaggwe ab’eggombolola ya Ssaabagabo Buikwe, Amakula mu Lubiri lwa Ssaabasajja e Mmengo.
Owek. Kiyimba abazadde abasabye bakulemberemu olutalo ku Mukenenya kuba abavubuka n’abaana bulijjo babatwala ng’eky’okulabirako.
Minisita Kiyimba era alabudde abantu okuddamu okusoosowaza ebyobulamu mu maka n’ebintu gyebawangaalira nga singa beesuliryo gwanagamba ku nsonga eno bandilumbibwa endwadde ezeekusa ku buliggo nga era kibeera kizibu okulaakulana .
Katikkiro w’Ebyalo bya Kabaka, Omuk. Moses Luutu akukkulumidde bannayuganda abakozesa omutimbagano mu bukyamu nebatabaako kyebagweyambisa kuyiga wadde nokugassa abalala.
Omwami wéggombolola Ssaabawaali Buikwe Musoke Mayenje Albert aweze nti bakwongera okuba abakozi ate nokunnyikiza enteekateeka z’Obwakabaka mu bantu ba Kabaka basobole okulaakulana n’okutumbula embeera zabwe.

previous post