Minisita avunaanyizibwa ku buwangwa, ennono, obulambuzi n’ebyokwerinda mu Buganda, Owek. David Kyewalabye Male asabye ab’olulyo olulangira okwewala ababerimbikamu nabakola ebityoboola Nnamulondo.
Owek. Kyewalabye bino abyogeredde mu kuggulawo olusirika lwa Bannaalinnya n’Abalangira, abakulira emituba mu Lubiri lw’e Mmengo ku Lwokubiri.
Ono era asabye ab’Olulyo Olulangira okuba eky’okulabirako eri ebika ebirala, nga bakuuma ekitiibwa kya Kabaka, ekyabwe, ate n’ekya Nnamulondo era balwanyise abo bonna abakola ebikolwa ebigityoboola.
Ate Omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule bw’abadde abatuusaako obubaka bwa Katikkiro Mayiga alambise nti enkulaakulana mu mbiri zino eyisibwe mu nnono.
Katikkiro agamba nti emisomo oba ensirika nga zino zijja kuyamba nnyo okuvvuunuka ebisomoozo naddala abo ababerimbikamu nebakola ebyambyone.
Ye Ssaabalangira Godfrey Kikulwe Musanje, abasabye okukuuma ebyama byabwe n’okwewala enjawukana basigaze ekitiibwa ng’Olulyo Olulangira.
Ate Nalinnya Sarah Kagere asabye abaweereza mu bitongole by’obwakabaka okunyweza obumu mu nkola yabyo, naddala mu kulwaanyisa abagezaako okubba ettaka ly’Obwakabaka.
Olusirika luno lwategekeddwa minisitule ye by’obuwangwa n’ennono, embiri, olulimi oluganda, okunoonyereza nebyokwerinda wansi w’ omulamwa ogugamba nti Enkulaakulanya y’Embiri etambulira ku buwangwa n’ennono.