Katikkiro Charles Peter Mayiga akunze bannayuganda yonna gyebali bulijjo okulima emmwaanyi beewale okwekwasa kuba buli mulimu gulina ebigusomooza.
Okwogera bino Katikkiro Mayiga abadde ayogerako eri bannamawulire nga ayolekera ebizinga bye Ssese ku nteekateeka y’Emmwaanyi Terimba ku Mmande okulambula abalimi ba Beene.
“Mbakubiriza balime wadde waliwo abagamba nti tebalina ttaka ekyo kituufu naye era bwogamba omuntu nti suubula waliwo akugamba nti sirina ntandikwa. N’omuyigirize ajja kugamba nti emirimu tegirabika, ekyo kireme kuba nti kye kyekwaso kyetukulembeza,” Owek. Mayiga bw’agambye.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga wadde abantu beeno baagala nnyo okulima ebinazi naye akaseera katuuse balowooze ku kulima emmwaanyi.
Katikkiro waakulambula abalimi mu Ggombolola ssatu okuli Mugoye, Bujjumba, Mutuba II Kalangala era nga wadde ataalaze Amasaza ga Buganda ag’enjawulo abadde tatuukangako Ssese.
Mu kulambula kuno, Owek. Mayiga awerekeddwako baminisita okuli avunaanyizibwa obutereevu ku byobulimi Owek. Mariam Mayanja Nkalubo Nassejje, Owek. Noah Kiyimba, minisita wamawulire era omwogezi wa Buganda ne Minisita w’ Abavubuka, Owek. Henry Kiberu Ssekabembe.
Bino webijjidde nga ekitongole ekivunaanyizibwa ku Mmwaanyi mu ggwanga Ki Uganda Coffee Development Authority kyakamala okusiima Obwakabaka, Katikkiro Mayiga awamu ne BUCADEF olw’okutumbula ekirime ky’ Emmwaanyi.
Ku ssaawa kkumi Mukuumaddamula abadde atuuse ku mwalo gwe Bukakata era ayaniriziddwa John Baptist Lubega akulira entabuza yemirimu ku kidyeri kya MV ssese era kirutwalidde eddakiika asatu okutuuka ku mwalo gwa Luku-Bugoma.
Ku mwalo gwe Bugoma Katikkiro ayaniriziddwa Minisita omubeezi owebyobulimi avunanyizibwa obutereevu ku Mmwaanyi, Omwami w’essaza lino, Kweeba Augustine Kasirye, omubaka Hellen Nakimuli awamu n’abalala.
Mukuumaddamula atandikira wa Paul Ssemanda e Buyindi mu ggombolola ya Ssaabaddu Mugoye n’ oluvannyuma aggulewo ekyuuma ky’Emmwaanyi ku kyalo Bweeya.