Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiya, akunze abantu bulijjo okunywa kkaawa beesonyiwe ebimwogerwako kuba tebiriiiko mutwe namagulu.
Okusaba kuno Katikkiro Mayiga akukoledde ku mbuga y’ essaza Buddu ku Mmande bw’abadde aggulawo omwoleso gwa CBS PEWOSA, ogumaze ennaku ttaano nga guyindira mu kifo ekyo.
“Njagala okutegeeza abantu nti balekere awo okutya okunywa kkaawa. Wajjawo ebyogerwa nti kkaawa akubisa entunuusi, nti alina obuzibu bwaleeta ku bakyala, ebyo byonna byaleetebwa abavuganya nga baagala abantu baleme kunywa kkaawa, okulwala entunuusi kireetebwa omuntu alina emisuwa emifunda nga amazzi amangi nga gayita mu mufulege omutono era bwegutaba mu kipimo kituufu guyinza okwabika,” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.
Ono era asaabuluddde ebigambibwa nti kkaawa alemesa abantu okwebaka nagamba nti singa omuntu anywa ekintu kyonna nga agenda okwebaka ayinza okulemwa okwebaka kuba okwebaka omuntu alina okubeera omukakkamu mu bwongo n’omutima.
Okusinziira ku Mayiga, singa abantu banajjumbira okunywa kkaawa kijja kuyamba nnyo okwongera okumufunamu nga batondawo akatale akasooka nga bwe guli ku matooke.
Owek. Mayiga agambye nti enteekateeka eno eggidde mu kiseera ekituufu ng’Obwakabaka buli mu kaweefube ow’okutumbula n’okuzzaawo ekirime ky’emmwanyi, owa Mmwanyi Terimba, n’asiima n’ebitundu bya Uganda ebirala abantu gye bawulidde kaweefube ono ne balima emmwanyi.
Katikkiro era yeebazizza aba Masaka Cooperative Union olw’ebbanga eppanvu lye bamaze mu mulimu ogw’emmwanyi, nga ne mu kiseera kino, bakyagulimu nnyo.
Akiikiridde baminisita b’ebyobulimi mu ggwanga era minisita amawulire, Owek. Noah Kiyimba asabye gavumenti okukendeeza oba okujjawo omusolo ku bintu ebikozesebwa mu bulimi nobulunzi kyanguye enkulaakulana.
Ate Ssenkulu wa CBS, Omuk. Michael Kawooya alambuludde ku nteekateeka gyebalina nga baagala omwoleso guno okubunyisibwanga mu masaza ga Buganda gonna okutuukiriza ekiruubirirwa.
Omukolo guno gwetabiddwako Nnaalinya Sarah Kagere ne Bbaale Mugera, Ppookino Jude Muleke, abaami b’amasaza abalala, abantu ba bulijjo n’ abaana bamasomero .