24.2 C
Los Angeles
September 24, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Owek. Mayiga alabudde abantu ku kirwadde ky’Ebola.

Katikkiro Charles Peter Mayiga ayimirizza enteekateeka y’abaana b’amasomero okuleeta Oluwalo embuga ng’omu ku kaweefube w’okubataasa ku kirwadde kino.

Okusaba kuno, Owek Mayiga akukoledde mu bimuli bya Bulange ku Lwokubiri bw’abadde atikkula Oluwalo okuva mu bantu ba Kabaka abavudde e Kyaddondo, Buddu, Butambala ne Buvuma.

“Ebola si ddogo era togenda kukulagula ng’plina obubonero naye genda wabasawo. Olwa katyabaga k’ Ebola ndowooza abaana b’amasomero tugira tuyimirizaamu okubaleeta wano tumale okwetegereza ensonga eno, kuba bajja mubungi era bwewabaawo omu akwatibwa ayinza okusiiga abalala,” Katikkiro Mayiga bw’agasseeko.

Katikkiro Mayiga ategeezezza nti kizibu okwewalika era singa bafuna obubonero bw’ekirwadde kino badduke mangu eri abasawo oba abakulembeze era baleme kwekweka.

Ono abasabye okwewa amabanga,okwewala okukwata ku bafudde ekirwadde kino, okukwatagana mu ngalo awamu n’okuziika abantu abafudde ekirwadde kino. Era asabye abantu abawangaalira mu bitundu ebirimu ekirwadde kino okusigalayo.

Owek. Mayiga asabye abantu okukomya okulya ebisolo by’omu nsiko awamu n’okulya ebifudde era bakuume ebiragiro bya Minisitule y’ebyobulamu kuba Ebola si ddogo wabula bulwadde obusobola okuwona singa omuntu afuna obujjanjabi obutuufu.

Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, Buganda yazimbirwa ku nkola ennungi ttaano nga muno mwalimu; Okulanya ewa Ssabasajja Kabaka, okulamaga ku butaka, Bulungibwansi, Oluwalo awamu n’omusolo.

“Abantu bwebaalanyanga ewa Kabaka ng’amakula bagatwala era Kabaka nga Nnamuswa nga enkuyege aziraba, abantu bwebalamaganga ku butaka gyebasibuka ng’olwo ebika binywerera ddala bulungi nga n’abasiige nga balabika,” Owek. Mayiga bw’agambye.

Owek. Mayiga agamba nti Bulungibwansi yali agendereddemu kulaba nti ebitundu birabika bulungi era kino kyewuunyisa abazungu okusanga nga enguudo nnime era nga ngazi bulungi wadde nga tewaali mmotoka, enzizi nga ngogole nga n’ennimiro za Kabaka abantu bazirina era kyali kizibu okufa enjala.

Oluwalo, Katikkiro Mayiga annyonnyola nti lino lyabanga katala eryaweebwanga abantu ba Kabaka nga waliwo omulimu ogwetaaga okumalirizibwa era kino kyakolebwanga okusinziira mu bika oba amasaza n’amagombolola.

Owek. Mayiga agasseeko nti omusolo mu Buganda gwakung’aanyizibwanga okuva ku byalo, emiruka, amagombolola awamu n’amasaza era guno gwatwalibwanga  ku mbuga ya Katikkiro olwo ye nabyanjula ewa Kabaka.

Ono annyonnyola nti enkola eno yeyazimba Buganda okutuusa abazungu webagisangira nebagisanyaawo era Kabaka Mutebi bweyadda kwekusalawo okuzza ebintu bino ebyafuula Buganda ekkula.

Ye  Minisita Omubeezi owa Gavumenti ez’Ebitundu, Owek. Joseph Kawuki, yeebazizza abaami ba Kabaka olw’okubeera eky’okulabirako ekirungi mu bantu. Era wano ayanjudde Oluwalo oluvudde e New England,  Boston ne Massachusetts  nga lwa bukadde 18.

Amasaza gonna agakiise olwa leero, galeese Oluwalo lwa bukadde 64.

Related posts

Bannayuganda basabiddwa okukomya okusaagira mu nsonga z’ebyobulamu.

OUR REPORTER

Kkooti egobye okusaba kwa Ssegiriinya ne Ssewanyana okweyimirirwa

OUR REPORTER

RDC w’eKayunga alabudde abagagga.

OUR REPORTER

Leave a Comment