Katikkiro Charles Peter Mayiga, alambudde abantu ba Kabaka abawangaalira e Kabale, gy’atongolezza ebendobendo lye Ssentema Kigezi Kabaale era nakuutira abavubuka okwettanira obuweereza.
Owek. Mayiga era asisinkanye abavubuka abeegattira mu kibiina ki Buganda Nkobazambogo abasomera mu Matendekero g’ekitundu kino.
Ku bugenyi buno era Katikkiro Mayiga atongozza woofiisi y’emirimu gy’ abantu ba Kabaka mu kitundu kino okwongera okutumbula entambuza y’emirimu n’empeereza eri abantu ba Beene.
Katikkiro asabye abantu abakulu okuyambako okuteekateeka abavubuka mu Buweereza n’obukulembeze, eggwanga bweliba lya kugenda mu maaso era nga baagala likulaakulane.
Owek. Mayiga alabudde abaganda okukomya okwelumaluma mu by’obufuzi bateeke amaanyi ku bibagatta, olwo bazimbe Buganda okugituusa ku ntikko.
Katikkiro bino abyogeledde ku Hotel Triangle mu Kibuga Mbarara, bw’abadde aggulawo ekkakalabizo ly’abantu ba Kabaka abali ebweru wa Buganda.
Ono yeebazizza Haji Mutaasa Kafeero olwokuteekawo woofiisi, abantu ba Kabaka mwebanasinziira okukola emirimu gya Beene.
Ye minisita w’abavubuka emizannyo n’okwewummuza akubirizza abavubuka okwenyigira mu bukulembeze obwabuli ngeri zonna, nga batandikira mu matendekero gyebali.
Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu era avunaanyizibwa ku bantu ba Kabaka abali ebweru wa Buganda, Owek.Joseph Kawuki akuutidde abaweereza okwongera okuzuula n’okusembeza abantu ba Kabaka benyigire mu mirimu egikulaakulanya Buganda.
Akiikirira abantu ba Kabaka mukitundu kya Ankole – Kigezi, Hajji Mutaasa Kafeero ategeezezza nti ekimu ku bizibu byebalina kwekutabiikiriza eby’obufuzi mu buweereza ekitaataaganyiza emirimu gyabwe.