21.6 C
Los Angeles
September 26, 2023
Image default
AmawulireEssanyuFeatured

Owek. Mayiga asabye abalina kampuni okunyweza omutindo.

Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abantu abalina kampuni n’emirimu egy’enjawulo bulijjo okunyweza omutindo kibayambe okugenda mu maaso olwo bakulaakulana ne Buganda edde ku ntikko.

Okusaba kuno Katikkiro Mayiga akukoledde mukulambula Gombolola ya Makindye Mutuba III ku Lwokusatu, nga asookedde ku kifo ekisanyukirwamu ekya Climax entertainment centre era kino akigguddewo mu butongole.

“Buganda okugenda ku ntikko tulina okulongoosa emirimu, ogubadde ku ddaala lino gutuuke ku ddaala lino. Buli lw’oyagala okwezimba, olina kulongoosa ekyo ky’okola nokirinyisa omutindo. Obunafu bwetulina abantu bangi batya okukola eby’omutindo kuba bimalawo ssente nyingi naye ssente eweesebwa ssente,” Kamalabyonna Mayiga bw’ategeezezza.

Katikkiro Mayiga agamba nti bwobaako byotandise nebwoleeta bannaddiini bebakiwonga eri Katonda naye nolemwa okuteekamu ssente tolina ky’osobola kukifunamu.

Owek. Mayiga annyonnyodde nti Buganda okudda ku ntikko zisimbye emirandira mu bantu baayo okutambula nga bagenda mu maaso era nabakuutira bulijjo obutadda mabega.

Ono asabye bulijjo abantu okukuuma eddaala kwebalinyira era bakomye okulisamba wabula bulijjo bajjukire gyebavudde okusobola okwekeneenya gyebalaga.

Akuutidde abakozi ku mitendera gyonna okutwala ebifo mwebakolera okusinga nnyini kyo kuba singa wabaawo ekizibu ku bifo bino bebasinga okukosebwa era nga kibeera kyangu emirimu okugifiirwa.

Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu mu Bwakabaka, Owek.  Joseph Kawuki asabye abamu  ku bakozi bebasanze mu bifo ebirambuddwa okubeera abakozi era emirimu bagikolere mu buyiiya n’obumalirivu.

Owek. Kawuki asabye abantu bulijjo okunyweza obukakkamu n’obuntubulamu era bongere omutindo mwebyo byebakola kibayambe okulaakulana.

Ye Nnanyini kifo kino era nannyini wa Pakalast, Coffee Plus ne Mirano, Raphael Lule yeebazizza Katikkiro Mayiga olw’okubakubiriza bulijjo okukola awamu n’okulaakulanya Obuganda.

Related posts

Parliament ya America eyagala kussa nvumbo ku babaka ba Uganda.

OUR REPORTER

 Munnayuganda omusuubuzi e South Africa yafumise mukazi we n’amuta.

OUR REPORTER

Nabulime  eyatulugunya omwana e Luweero asindikiddwa mu nkomyo.

OUR REPORTER

Leave a Comment