Katikkiro Charles Peter Mayiga asomoozezza abazadde abasuula n’okulekawo abaana baabwe abalina obulemu okukikomya kuba abaana bano basobola bulungi okubeera ab’omugaso eri eggwanga.
Bino Kamalabyonna Mayiga abyogeredde Kawoko mu ggombolola ya Musaale Butuntumula e Bukomansimbi mu ssaza Buddu mu kuziika Joy Elizabeth Nanyanzi mukulu wa mukyala we Margaret Mayiga.
Owek Mayiga agamba nti ekyewunyisa kwekuba ngate abaana bano abaweereddwa omukisa basobodde okukola ebintu ebikulu era nebafuukira ddala ensonga okusinga abo abataliiko bulemu.
Wano Katikkiro Charles Peter Mayiga wasinzidde neyebaza abazadde olw’okumulabirira nokumufaako okutuuka lwavudde mu bulamu bwensi.
Owek. Mayiga agamba nti olw’ensonga eno, Obwakabaka okussaawo olunaku lwa Decemba 14 okwefumiitiriza ku bantu abaliko obulemu.
Omugenzi Joy Elizabeth Nanyanzi ku myaka 10 omusujja n’olukusense byamuziba amaaso ekizibu kyawangadde nakyo okutuuka ku myaka 60 kweyafiiridde wiiki ewedde.
Wabula newankubadde abadde yafuna ekizibu kino bakadde be Medard Walakira ne Nyina kati omugenzi tebamusuula.
Omukolo gw’okuziika gwatandise n’okusaba okukulembeddwamu omusumba wa St. Simeon Butenga Rev. Julius Ssonko, asomoozezza abantu okubaako kyebakolera abalala okusinga okwelaguza.
Ye Margaret Mayiga ne kitaabwe Medard Walakira boogedde ku mugenzi ng’abadde ekirabo mu maka gano ate olw’essanyu lyabadde nalyo buli kadde wadde nga abadde muzibe w’amaaso.
Joy Elizabeth Nannyanzi yazaalibwa mu mwaka gwa 1962 mu Augusto nga 4 yafudde nga 7 Nov 2022.