Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abakyala abawandiika awamu n’okusoma ebitabo okwongera okunoonya okumanya kibayambe okwonger okuwawula obwongo.
Owek. Mayiga. entanda eno yagiwadde ekibiina ekitaba abakyala abawandiisi n’abasomi b’ebitabo ku Rozaho Bistro e Kololo mu Kampala.
Bano basaba Kamalabyonna abasisinkane ayongere okubalambika ku ngeri gyebasobola okulondamu emiramwa egy’enjawulo.
” Ndimusanyufu okulaba ng’abakyala beenyigidde mu kusoma n’okuwandiika ebitabo. Kino kijja kubayamba okugaziya obwongo ate n’okwogiwaza eggwanga lyaffe. Anti bw’osomesa omukyala oba osomesezza eggwanga,” Katikkiro Mayiga bwe yagambye.
Katikkiro yasiimya nnyo enteekateeka eno, era ne yeebaza abakyala olw’omulamwa gwe baliko, ogw’okutumbula okuwandiika n’okusoma ebitabo.
Yakikkaatirizza nti, okusoma n’okuwandiika bigaziya obwongo n’okumanya kwaffe. Omuntu bw’asoma, afuna okumanya, so ng’ate omuntu bw’awandiika, ayiga bingi mu kunoonyereza kw’ebyo by’aba awandiiseeko.
Owek. Mayiga yawadde abakyala bano amagezi okunywerera ku mulamwa gw’ekibiina kyabwe, bawandiike ebitabo; babisome; boogiwale; bakole nnyo; babeere beerufu, bajja kugaggawala, era bazze Buganda ku ntikko.
Asabye abazadde okuyigiriza abaana baabwe ebintu eby’omugaso okusinziira ku myaka gy’abaana.
Akulembera abakyala bano, Charity Mbabazi agamba nti essira baalitadde nnyo ku kitabo kya Katikkiro ki “Work & Prosper”, nga baagala abalambululire ku miramwa gye yassa mu kitabo ekyo nabo banoonye engeri gyebayinza okugyeyambisa.
Mbabazi yategeezezzza nti bwe baasoma “Work & Prosper”, baasangamu ebintu eby’omugaso eri obulamu bwabwe bingi nnyo ddala, ne kibasikiriza okwagala okutuulako naye, ayongere okubalambika ku miramwa egyo.
Ensisinkano eno yetabiddwamu Omuk. Roland Ssebuufu Ssenkulu wa BICUL awamu n’abalala.