Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye omubaka wa Bungereza mu Uganda, Kate Aire era naddamu okusaba abantu wonna gyebali bakole buli kimu okulwanyisa ekirwadde kino kuba kyabulabe nnyo.
Ensisinkano eno yabadde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu nga Ambasada Aire abadde azze okukiika embuga n’okubaako ensonga enkulu zawayaamu ne Mukuumaddamula.
Ambasada Aire yatuuse ku ssaawa ttaano ez’okumakya nga awerekeddwako omukungu Tarka Simon era bano baayaniriziddwa akola mu nsonga z’abagenyi Omuk. David Ntege.
Ono yefumbye akafubo ne Kamalabyonna awamu ne minisita ow’emirimu egy’enkizo Owek. Daudi Mpanga era muno temukkiriziddwamu bannamawulire.

Mu kwogerako eri abamawulire, Katikkiro yategezezza nti ensonga gyebasinze okussaako essira ky’ekirwadde kya Ebola kubanga Kate Aire alina okumanya oba olyawo ku kirwadde kino kuba yeyali omubaka wa Bungereza e Sierra Leone mukiseera ekirwadde kino wekyabatawaanyiza ennyo.
Mayiga era yasinzidde wano nasaba abantu obutaba balagajjavu mu kulwanyisa ekirwadde kino ate kuzza ku ggwanga ku muggalo wabula bagondere ebiragiro bya minisitule yebyobulamu.
Ye Ambasada wa Bungereza Kate Aire yeeyamye okukwasizaako Obwakabaka okulwanyisa ekirwadde kino kyokka nasaba obuyambi obunawebwayo okukozesebwa obulungi.
Ono era yebazizza Obwakabaka olw’okumanyisa abantu ku ngeri y’okulwanyisaamu ebirwadde wamu n’okukubiriza abantu okukola okweggya mu bwavu.