Katikkiro Charles Peter Mayiga atenderezza omulimu amakula ogukolebwa bannamawulire abagasakira Embuga wabula nabasaba bulijjo obuteekubagiza nga basanze ebibasomooza kuba buli wamu webiri.
Bino Katikkiro Mayiga abyogeredde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu bweyabadde asisinkanye bannamawulire abagasakira Embuga okubaagaliza omwaka omuggya awamu n’okubaagaliza eggandaalo lya Ssekukkulu.
Kamalabyonna Mayiga ategeezezza nti bano bamugaso nnyo kuba bayamba abantu ba Kabaka okumanya ku nteekateeka ez’enjawulo Buganda zerina omuli; Emmwaanyi Terimba, Kkaawa Mpologoma, awamu n’ enteekateeka endala Beene zaleeta okubagasa.
Owek. Mayiga agamba nti emu ku ngeri amawulire ag’obulimba gyegatambula kwekuba nti gyegakolerwa tewabaayo bannamawulire bakugu abasobola okutegeeza ensi ekituufu bwatyo nabasaba bulijjo okwongera obukugu n’obuvunaanyizibwa mu mulimu gwabwe.
Ono era asinzidde wano nasaba gavumenti okuwa bannamawulire eddembe lyabwe kibayambe okukola obulungi omulimu gwabwe era bagase ensi.
Ye minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ Amawulire ne Kkabineeti mu Bwakabaka, Owek. Noah Kiyimba annyonnyodde nti omulimu bano gwebakola gukola kinene okusitula embeera z’abantu mu by’obulamu, ebyenjigiriza n’enkulaakulana.
Bbo bannamawulire basuubizza okwongera omutindo mu nkola y’emirimu gyabwe era nebawera okwongera okuweereza Ssaabasajja Kabaka awatali kumutiirira.
Bano era beebazizza Katikkiro Mayiga olw’okubalaba nga bansonga awamu n’okubawa ettu lya Ssekukkulu nabo basobole okunyumirwa eggandaalo lino.