24.2 C
Los Angeles
September 24, 2023
Image default
AmawulireEbyobusubuziEssanyuFeatured

Owek. Mayiga atongozza ekitundu ky’omwaka ‘B ‘eky’ Emmwaanyi Terimba.

Katikkiro Charles Peter Mayiga azzeemu okukuutira abalimi  b’eggwanga mu ggwanga okufaayo ku mutindo gwazo nga batandikira ku ndokwa zebafuna okusimba bweba bakufuna mu mulimu guno.

Okwogera bino Katikkiro Mayiga abadde ku bizinga by’e Ssese nga alambula abalimi baayo, okuggulawo ekyuma ekisunsula emmwaanyi ekya Ssese Coffee Centre awamu nokutongoza omwaka B ogw’ Emmwaanyi Terimba.

Mu kulambula kuno Owek. Mayiga asookedde wa Mw. Ssemanda Paul alima nokulunda ku kyalo Mirembe mu ggombolola ye Buyindi ku bizinga bye Kalangala mu Ssese.

“Ayagala okwongera omutindo ku mmwaanyi sibya kusiika kkaawa eyo gyebigwera. Emmwaanyi twagala zamutindo abalimi basobole okufunamu naye kitandikira ku ndokwa zokozesa. Bwoba olowooza eby’ omutindo sookera ku ndokwa okakasa nti zentuufu,” Katikkiro Mayiga bw’alambuludde.

Ono era abakuutidde okufaayo ku nnima y’emmwaanyi kuba eno ekwatagana bulungi n’omutindo gw’emmwaanyi kuba ebigimusa nabalimisa abalina obukugu  kitegeeza kufuna mu kirime kino.

Oluvannyuma Mukuumaddamula yeyongeddeyo okuggulawo ekyuma ekisunsula emmwaanyi ku kyalo Buligo nga lino nalyo lya Ssemanda era ng’ono ataddewo n’emmeresezo y’ Emmwaanyi okusobola okuzituusa kwabo abazeetaaga.

Mw. Paul Ssemanda nnanyini nnimiro agamba nti ekyamutandisa ennimiro kusomesa bantu abeeno ababadde ennyo mu kirime eky’ ebinanzi.

Katikkiro Mayiga bw’atuuse ku kyalo Kalugulu  ewali omuvuzi wa boodabooda Kyeswa Kizza nga naye alima emmwaanyi n’okulunda era abaayo  naddala abavubuka ba booda booda abasabye okwettanira ekirime kino.

Bw’abadde ayogerako eri abavubuka be Ssese, Minisita w’Abavubuka, emizannyo n’okwewummuza, Owek Henry Ssekabembe Kiberu asabye abavubuka obutalinda bidde okutandika ku nteekateeka y’okweggya mu bwavu.

Mu kwongera okutalaaga ebizinga, alambudde ennimiro y’omwami wa Kabaka ow’eggombolola ya Mutuba II Kalangala ku kyalo Mwena Eugen Kitaatire alina yiika 8 kyokka nga wano wakati mu binazi agamba yassaawo yakusomesezaako bantu yiika emu.

Wano Owek. Hajji Amis Kakomo ategeezeza nti obwakabaka bwakwongera okussaawo abalimisa okuyambako abalimi okunyikira mu mmwanyi nga kati Buganda erina abalimisa abasoba mu 600 nga bano bonna balina kulaba nti omutindo gw’ emmwaanyi ezirimibwa mu Buganda gutumbuka.

Oluvannyuma lw’okulambula abalimi abawerako, Kamalabyonna Mayiga akubye olukungaana ku mbuga y’essaza era wano watongolezza  ekitundu ky’ Emmwaanyi Terimba B nasaba okunyiikira okukola.

Ye omwami w’essaza,  Kweeba Augustine Kasirye ayanjulidde Katikkiro alipoota ku mmwanyi namutegeeza nti newankubadde nga ekyuma ekyaaliwo kyasaanawo baasigala balima era basanyufu nti mwami Ssemanda yabateereddewo ekyuma ekisunsula emmwanyi.

Mu balala abawerekeddeko Katikkiro Mayiga mu kulambula kuno kuliko; Minisita wamawulire era omwogezi wa Buganda Owek. Noah Kiyimba, Owek. Mariam Mayanja Nkalubo Nassejje awamu n’abakungu abalala.

Related posts

ETTEMU!! Abadde ava ku mbaga attiddwa mu bukambwe.

OUR REPORTER

Eggye lya UPDF awamu ne poliisi banokoddwayo nate  nga abasinze okulinyirira eddembe ly’obuntu.

OUR REPORTER

Mukyala wa Maj. Kakooza Mutale aziikiddwa

vega

Leave a Comment