Katikkiro Charles Peter Mayiga yazzeemu okusaba bannabitone naddala abayimbi okwewala okuva ku mulamwa era bulijjo bakulembeze omutindo mu byebakola bweba baagala okugenda mu maaso.
Bino Katikkiro yabyogeredde mu nsisinkano gyabaddemu n’omuyimbi Moses Matovu owa Afrigo Band, mu woofiisi y’ e Bulange e Mmengo ku Lwokusatu namuyozaayoza okuweza emyaka 73 nga ali ku mulamwa.
“Bantu batono nnyo abaweza emyaka 73 nebaba nga bakyakola ebintu abantu byebayaayanira kiba kitone kya njawulo nnyo. kebabe abayimbi oba bannamateeka oba abasawo, omutindo gw’obukugu gwokozesa ndowooza lye ssomo ffenna ly’otuwadde,” Mayiga bweyannyonnyodde.
Yamwebazizza olw’okutendeka abantu abawerako era nasaba abantu abalina byebakola okumuyigirako kuba wadde okuyimba kusanyusa bantu naye mulimu ogufaanana n’oyo asiba ettaayi.
Owek. Mayiga yategeezezza nti Matovu amanyiddwa nnyo olw’okuyiiya ennyimba ezizimba awamu n’okubeera omu ku bakkomoonsi b’omulerere abatono abali mu ggwanga kyokka nga ebbanga lyonna byakola abadde abikozesa bukugu.
Kinajjukirwa nti mu 2016, Ssaabasajja Kabaka yasiima bandi ya Afrigo era Omutanda nasiima Moses Matovu ak’enjawulo era namuwa ejjinja ery’omuwendo nga amwebaza okuyiiya ennyimba ezizimba abantu be bweyali ajaguza okuweza emyaka 61 ku ssomero lya Kings College Buddo.
Moses Matovu yebazizza Katikkiro olwokumusiima naalaga okusomoozebwa kwebakyalina ngabayimbi omuli okutyoboolebwa naddala abo abasigadde kumulamwa gwokuyiiya enyimba.
Mu ngeri yeemu abaddukanya essomero lya St Henry’e College erisangibwa e Kitovu mu Buddu baliko engule gyeyabawadde Obwakabaka ng’ akabonero akasiima enkulaakulana gyebutadde ku byenjigiriza ye ggwanga.
Engule eno yaweereddwayo ku mukolo, essomero lino bwelyabadde lijaguza emyaka 100 bukya essomero lino litandikibwawo ku wiikendi eweddde.
Abatwala St Henrys bategeezezza nti basiimu ebitagambika olwa Buganda okuwa Ekleziya ettaka okwazimbwa essomero lino era bano engule bagittise Ppookino Jude Muleke nga yalireese e Bulange.