Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yasisinkanye abamu ku bavujirizi b’ Amatikkira g’omulundi ogwa 29 nabategeeza nti guno si mukola bukolo naye kwefumintiriza kwebyo abaganda byebakkiririzaamu omuli obuwangwa n’ennono.
Bino Katikkiro yabitegeezezza abavujjirizi b’amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II aga 29 aganaakuzibwa ku Ssande eno mu Lubiri e Mmengo abamusanze mu Bulange e Mmengo ku Lwokuna.
Mayiga yategeezezza nti Amatikkira kyekimu ku bintu ebiyamba okutumbula embeera zabwe awamu nokwongera okukuba ttooci kwebyo ebituukiddwako.
Kamalabyonna yeebazizza abavujurizi bano olw’okwetaba mu nteekateeka eno.
Ye Ssentebe w’ Amatikkira , Owek Patrick Luwaga Mugumbule, yeebazizza abavujjirizi abawagidde omukolo gw’omwaka guno naabasaba okugenda mu maaso n’enkola eno.
Abamu ku bavujirizi b’omukolo guno kuliko, Nile Breweries abasogola Engule abawaddeyo obukadde 25, Bbanka enkulu eya Uganda ewaddeyo obukadde 10, Kampuni ya Sum, ekitongole kya Buganda Land Board, Majestic Brands n’abalala.
Ensisinkano eno yeetabiddwako; Minisita w’Olukiiko, Kabineeti n’Amawulire, Owek Noah Kiyimba, Ssenkulu wa Majestic Brands, Remmy Kisakye, n’abakungu abalala.