Minisita wekikula ky’ abantu, ebyenjigiriza era avunaanyizibwa ku byobulamu mu Buganda, Owek. Dr Prosperous Nankindu asabye abantu bulijjo okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe.
Okusaba kuno Minisita Nankindu akukoledde mu bimuli bya Bulange bweyabadde atikkula Oluwalo lwa bukadde 62 okuva mukitongole ky’abakyala ekivudde e Ssingo wamu n’ eggombolola ezivudde e Busiro ku Lwokubiri.
Owek. Mayiga akaatiriza obukulu bw’ okukiika embuga nasaba abantu bonna okukitwala nga kikulu kuba buno buvunannyizibwa bwabuli muntu era lyelimu ku makubo agagenda okuyamba okuzza Buganda ku ntikko.
Ono abasabye era okutwala ennono n’obuwangwa bwabwe nga bukulu era bayambe okubunyikiza mu balala naddala mu miti emito kuba bano bebayimiridde Buganda ey’enkya.
Minisita Nankindu bano abasabye okugondera ebiragiro by’ abasawo basobole okwewala ekirwadde ky’ Ebola ekiyinza okuzza eggwanga ku muggalo singa kyongera okusaasaana mu bitundu by’ eggwanga ebyenjawulo.
Ye Minisita omubeezi owa gavumenti ez’Ebitundu Owek. Joseph Kawuki bwabadde ayogerako nabantu ba Kabaka afalaasidde abazadde nga batuukiriza obuvunannyizibwa bwabwe eri abaana n’omwana omulenzi obutamusuula muguluka okuteekerateekera eggwanga abantu abagunjufu era abalimu ensa.
Akulembeddemu abaleese Oluwalo era Omwami wa Kabaka amulamulirako essaza Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza yebaziza eggombolola ezikiise embuga olw’okumannya obuvunannyizibwa bwabwe ng’ abantu ba Kabaka ate nebafaayo okubutuukiriza.
Ono ayanjudde ebimu ku bintu ebitawaanya abantu omuli banakigwannyizi abeesomye okwesenza ku ttaka ly’Obwakabaka nga nebifo ebyobuwangwa tebabitaliza.
Baweze okusigala obumu era okutwala emirimu gya Beene mu maaso wakati nga bayiiya engeri gyebasobola okuvuunuka obuzibu buno.