Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro II era omuwanika wa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa akubirizza abavubuka okwettanira amasomo g’ebyemikono kibasobozese okwetonderawo emirimu okusobole era bakulaakulane.
Entanda eno, Owek. Nsibirwa agiweeredde ku ttendekero lya Buganda Royal Institute of Business and Technical Education mu nsisinkano n’abakungu abaddukanya ettendekero okulondoola entambuza y’emirimu bwebadde mu myaka esatu egiyise.
Owek. Nsibirwa ategeezezza nti ebyemikono y’engeri yokka abavubuka gyebasobola okusimattuka ebbula ly’emirimu eririwo kuba kino kisobola bulungi okubawa obukungu obwenjawulo.
Mukiseera kino Obwakabaka buli mukusisinkana abakungu abaddukanya ebitongole by’Obwakabaka by’enjawulo n’ekigendererwa eky’okukuba ttooci mu nzirukanya y’emirimu mu bitongole bino mu myaka esatu egiyise.
Owek. Robert Waggwa nsibirwa asinzidde wano neyebaza Ssaabasajja Kabaka olw’okuteerawo abantu be amatendekero agayamba okutendeka abantu mu bukugu obwenjawulo.
Mu kulambula kuno Owek. Nsibirwa awerekeddwako minisita w’ebyamawulire mu Bwakabaka Owek. Noah Kiyimba, Ow’ebyenjigiriza Owek. Dr. Prosperous Nankindu era basisinkanye akulira ettendekero lino Omuk. Anthony Wamala.
Ye Minsisita w’ebyenjigiriza, eby’Obulamu,enkulaakulana y’Abantu n’emirimu mu yafeesi ya Nnaabagereka, Owek. Dr. Prosperous Nankindu asabye abazadde okukozesa oluwummula luno olunene okuteekateeka abaana babwe.
Ssenkulu w’ettendekero lino, Omukungu Anthony Wamala agamba nti bakwongera okuwa abayizi obukugu obubamala basobole okuvuganya mu katale k’emirimu munsi yonna n’obusobozi okwetandikirawo emirimu.