Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa akuutidde Abaami b’Amasaza mu Buganda obutakoowa kulwanyisa bwavu mu bantu ba Beene kiyambe okutumbula embeera zabwe.
Obubaka buno, Owek. Waggwa abuweeredde mu nsisinkano gyabaddemu n’Abaami b’Amasaza ku Lwokuna okusobola okwekebera n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwago mu Bulange e Mmengo.
Owek. Nsibirwa agamba nti Abaami bano bakoze bulungi okwagazisa abantu ba Kabaka enteekateeka za Buganda ez’enjawulo ezireeteddwa okubabbulula.
Ono annyonnyodde nti olw’ enteekateeka nga zino obwavu mu Buganda busobodde okukendeera nga kati buli ku bitundu 8 ku buli 100 so nga ebweru wa Buganda biri wakati w’ebitundu 13, 35 ate mu mambuka buli ku bitundu 48 ku buli 100.
Owek. Robert Waggwa Nsibirwa asinzidde wano nabeebaza olwamaanyi gebatadde mukutumbula enteekateka z’Obwakabaka eziyambye abantu okweggya mu bwavu.
Ayanjulidde Abaami bano enteekateeka eziriwo okuyamba abantu ba Kabaka abeetaaga okubeerwa nga bali wansi ne Habitat for Humanity nga wano ennyumba 13 zezimaze okuzimbibwa.
Baminisita abavunaanyizibwa ku gavumenti ez’ebitundu Owek. Christopher Bwanika ne Joseph Kawuki bategeezezza waliwo okugenda mu maaso mu masaza bwogerageranya n’emyaka egiyise.
Bino webijjidde nga Katikkiro Charles Peter Mayiga ateekateeka okugenda e Kyaggwe abakwase ekirabo ky’omwaka guno oluvannyuma lw’okuwangula amalala mu buweereza bw’ omwaka guno.
Wano Abaami babanjulidde enteekateeka y’ Enkuuka ya CBS nebyo ebigenda okusibwako essira era wano Omuk. Michael Kawooya Mwebe ategezeza nti bakulwanirira nnyo Obutondebwensi.