POLIISI y’e Bulenga ng’ekulembeddwa ASP Ronny Ssande enunudde abaana 20, ababadde bakuumibwa mu maka gw’omusumba era omusomesa wa Kampala High School agambibwa okubawamba okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo n’abayingiza ekidiinidiini.
Abaana bano abali wakati w’emyaka 6-17 baggyiddwa mu maka ga Daniel Kisoma abadde apangisa e Nakuwadde – Bulenga mu disitulikiti y’e Wakiso mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga.
Kigambibwa nti poliisi okuzingako amaka ga Kisoma, kyaddiridde omuzadde omu okuva e Mukono okubulwako omwana we Martha Adol, eyali asomera mu ttendekero ly’abasawo erya St. Francis School of Health Sciences Lugazi wiiki bbiri eziyise eyeekubira enduulu ku poliisi.
Annet Kizito, omutuuze w’e Mukono yategeezezza nti muwala we yabula ne banne abalala basatu, era nga bano baliko munnaabwe gwe babadde baperereza abeegatteko oluvannyuma lw’okumumatiza nti gye bali y’eri Katonda omutuufu.
Ono oluvannyuma lw’okubawa amawulire, baatemezza ku poliisi y’e Mukono eyakwataganye n’ey’e Bulenga ne basobola okutuuka mu maka ga Kisoma
we babadde bakuumira abaana bano.
Poliisi olwatuuse ewa Kisoma, yasoose kugitegeeza ng’abaana bano bonna bwe bali ababe era nga yasalawo okubakung’aanyiza mu kifo kino awali ‘Katonda omutuufu’.
Kigambibwa nti ono abadde yamatiza abaana bano nti okusoma okutaliimu Katonda mutuufu bwe kutaliimu mulamwa era ng’abamu yabaggya mu masomero.
Kizito yagambye nti omwana we yabulira ku ttende- A kero lya St.Francis era bwe yalaba bano tebamuyambye, yasalawo okubakuba mu mbuga z’amateeka nga bw’anoonya omwana we okutuusa lwe yamuzudde.
Kisoma yakwatiddwa n’omusajja omulala Eddy Gitta, agambibwa nti yabadde akola nga kayungirizi n’amasomero gye babadde baggya abaana okubaleeta e Nakuwadde.
Meddie Kaweesa, omu ku baatwala ebyokwerinda e Nakuwadde yategeezezza nti omusajja ono amaze emyaka egisob mu esatu ku kyalo era baa bamanyi nti awaka abeera wo n’abantu be kyokka nga gye buvuddeko eyali landiroodi we yamugoba oluvannyuma Iw’okufuna obutakkaanya, kwe kupangisa ennyumba endala ey’ekikomera kyokka nga bo ng’abakulembeze babadde tebamanyi byakoleramu.

Yavumiridde abasumba abeenyigira mu bikolwa by’okuwamba abaana n’abalemesa okusoma nga beerimbika mu by’eddiini era n’asaba balandiroodi okufaayo okwanjula abapangisa baabwe mu boobuyinza.
Abamu ku batuuze baategeezezza nti beekubira dda enduulu mu bakulembeze oluvannyuma lw’okwekengera ebikolebwa mu kikomera kino, okuli okuwulira emiranga ekiro ate ng’emisana basiiba beebase ng’abaana bano babadde tebakkirizibwa kufuluma.
Mu kiseera kino Kisoma, Gitta n’abaana bano bakuumirwa ku poliisi y’e Bulenga ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.
Wabula bano nga batuusiddwa ku poliisi, waliwo omuzadde omulala Deborah Namutebi eyatuuse n’alumiriza Kisoma ne Gitta okubuzaabuza mutabani we eyali omuzimbi.
Poliisi yayise omusawo okwekebejja abaana bano ne kizuulibwa nti bano babadde baakyusibwa obwongo.
Patrick Onyango, omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano yakakasizza okukwatibwa kwa Kisoma.