PALAMENTI yaakubeera n’olutuula olw’enjuwulo ku Lwokuna lwa wiiki eno okukubaganya ebirowoozo ku Uganda eyeegombesa okubeeramu nga bwe kyali kiteeseddwa omugenzi eyali sipiika wa Palamenti Jacob L’Okori Oulanyah nga tannafa.
Eggulo lwe gwaweze omwaka mulamba bukya Sipiika Jacob Oulanyah ava mu bulamu bw’ensi eno nga ono entebe teyagibandaalamu yadde omwaka.

Bwabadde aggulawo olutuula lwa Palamenti olwa leero, sipiika wa Palamenti Anita Among ategeezezza nti olutuula luno bagenda kuluwaayo okwefuminitiriza ku mirimu Oulanyah gye yakolera eggwanga n’okuba nga yali kyakulabirako gye bali mu ngeri gye yali akolamu emirimu gye.
Among agasseeko nti baakusigala nga bayambako ku famire ye kubanga yabayigiriza okukuuma obuntu nga ebigambo bye tebayinza kubyebakira bwebakizi.