22.4 C
Los Angeles
June 4, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Parliament ya America eyagala kussa nvumbo ku babaka ba Uganda.

Omubaka mu Parliament enkulu eya America emanyiddwanga Senate, Senator Bob Menedez aleese ekiteeso eri government ya America esse envumbo ku babaka ba parliament bonna n’abakulu mu government ya Uganda, olw’okuyisa etteeka erirwanyisa ebisiyaga.

Senator Bob Menedez nga ye ssentebe w’akakiiko ka parliament enkulu eya America Senate akavunanyizibwa ku nsonga z’amawanga amalala, okusaba kuno akwolekeza eri minister wa America ow’ensonga zamawanga amalala Anthony Blinken.

Senator Bob Menedez agambye nti etteeka eryayisiddwa parliament liteeka obulamu bw’abantu abeenyigira mu mukwano ogwebikukujju mu bulabe obw’amaanyi era lityoboola eddembe ly’obuntu.

Senator Bob Menedez talumye mu bigambo bye, agambye nti ky’ekiseera government ya America yesasuze mu ngeri esaanidde ate nga y’amaanyi, okuli okulangirira envumbo ku babaka ba parliament abaayisizza etteeka lino, wamu n’okukendeeza obuyambi government ya America bwewa Uganda nga bweyakola mu 2014.

Kinnajjukirwa nti Uganda yasooka okuyisa ebbago ery’engeri eyo mu mwaka gwa 2014.

Mu tteeka lino eryayisiddwa, parliament yaweredde ddala omuze gw’obusiyazi mu ggwanga era yataddewo ebibonereza okuli eky’okuttibwa , okusibwa amayisa mu nkomyo n’okusibwa emyaka egiri wakati we 10 ne 20 eri abasingisiddwa omusango gw’obusiyazi, okutumbula obusiyazi, okuvugirira omuze guno n’okuyingiza abaana abato mu muze guno.

Omwogezi wamaka gobwa president mu America Karine Jean –Pierre naye mukwogera kwe eri bannamawulire ku bbago lino eryayisiddwa, alabudde nti singa omukulembeze w’eggwanga ageza nalisaako omukono, ligenda kutaataaganya olutalo lwokulwanyisa mukenenya mu Uganda government ya America lyevugirira.

Agambye nti Etteeka lino era ligenda kutaataaganya eby’obulambuzi awamu nokusiga ensimbi mu Uganda kwotadde okwonoona ekitiibwa kya Uganda munsi yonna

Related posts

Nobert Mao  yalondeddwa okubeera Minisita wa Ssemateeka n’Obwenkanya.

OUR REPORTER

Buganda yakutta omukago naba National Drug Authority .

OUR REPORTER

Eyettanira okwambala mmini, wekkaanye bino

vega

Leave a Comment