17 C
Los Angeles
September 25, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Police eggadde oluguudo oluva e Busega okudda e Nateete.

Police eggadde oluguudo oluva e Busega okudda e Nateete mu kibuga Kampala, ng’eteekateeka okutegulula bbomu egambibwa okuba nti yategeddwa  okumpi ne police ye Nateete.

Ekintu ekiteeberezebwa okuba bbomu kigambibwa okuba nti kyategeddwa mu kifo ekimanyiddwa nga ku Mabiito.

Abantu 3 bakwatiddwa okuli abasajja 2 n’omukazi omu, abasangiddwa mu kamu ku buyumba obuli mu kifo ekyo.

Police yasoose kuzuula bbomu eyabadde etegeddwa ku kanisa ya Miracle Centre eya pastor Robert Kayanja.

Omuvubuka eyakwatiddwa nga yeyabadde atambuza bbomu eyo yategezeezza nti waliwo ne banne abalala 3 abaabadde balina bbomu zebateekateeka okutega mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.

Kigambibwa nti bbomu endala yategeddwa mu bitundu bye Zana police nayo gyeyolekedde okugiyigga

Related posts

NUP ewakanyizza ekya basipiika baayo okusisinkana M7.

OUR REPORTER

Kituufu gavumenti ewagira aba opozisition obutajjibwa mu palamenti?

OUR REPORTER

FORTEBET SHOWERS MBARARA, ISINGIRO, KABALE, NTUNGAMO WITH PRICELESS GOODIES.

OUR REPORTER

Leave a Comment