22.4 C
Los Angeles
June 4, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Police ekutte omukazi  agambibwa okusalako bba ebitundu by’ekyama.

Police mu Kampala n’emiriraano ekutte n’eggalira omukazi agambibwa okusalako bba ebitundu bye eby’ekyama, oluvannyuma lw’okufuna obutakaanya.

Omukazi akwatiddwa ye Joy Bira nga bba gweyasaze ye Baluku Johnson abatuuze be Nabisaalu Wasswa Zone mu gombolola ye Makindye.

Omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyesigire ategezezza nti byebaakazuula biraga nti ababiri bano baafunye obutakkaanya mu maka gabwe ku sunday ewedde nga 26 march,2023 ku ssaawa 4 ezokumakya,

ekyaddiridde mukazi kubaka kambe naakeculako bba ebitundu ebyekyama.

Omusajja yakubye enduulu eyaleese abaddukirize bagenze okumutuukako ng’avaamu omusaayi mungi, naafa nga bamuddusa mu ddwaliro.

Luke Oweyisigire agambye nti omukazi bamukutte agenda kutwalibwa mu mbuga z’amateeka avunaanibwe ogw’okutwalira amateeka mu ngalo n’obutemu.

Related posts

Ssaabasajja Kabaka yasiima naawayo ettaka bazimbireko ab’e Nansana eddwaliro.

OUR REPORTER

MELBET TAKES ON EXPRESS FC IN A MULTIMILLION SPONSORSHIP DEAL .

OUR REPORTER

Nnawummula CG Kiwanuka Musisi

OUR REPORTER

Leave a Comment