17.4 C
Los Angeles
December 7, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Poliisi eli ku muyiggo gyo musajja agabibwa okutta eyali mukyalawe

Police ye Jinja eriko omusajja ategerekeseeko erya Salimu gweyigga, kigambibwa nti yasse eyali mukyalawe.

Kigambibwa nti Salim yateeze  Mary Asiyo e Bugembe mu Jinja City, bweyabadde ava ku mulimu ng’adda ewannyina gy’abadde abeera.

Baali bayawukana bwebaafunamu obutakaanya, Asiyo n’anoba era ng’abadde asula wa maamawe e Bugembe.

Okusinziira ku mwogezi wa police mu Busoga ASP James Mubi, Salimu yateeze Asiyo ku kkubo naamufumita namuleka ng’ataawa, era abaddukirize bebaamuyoddeyodde nebamuddusa mu ddwaliro gyeyafiiridde.

Related posts

Bp. Michael Lubowa asabye bannayuganda  okujjumbira enteekateeka z’Obwakabaka.

OUR REPORTER

Abantu 4 basimattuse okufiira mu muliro.

OUR REPORTER

Abavubuka 19 abaakwatibwa mu kibanda kya ffirimu e Nateete bubakeeredde.

OUR REPORTER

Leave a Comment