21.6 C
Los Angeles
September 26, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Police ya Uganda eguze emmotoka  kapyata.

Police ya Uganda emmotoka kapyata, ezeeyambisibwa okwanganga abakyamu, nga n’abekalakaasi mwobatwalidde.

Emmottoka zino ziri 65 nga zonna tezyitamu masasi okuli ez’ekika Kya APC’s oba Armed Personnel Carrier ne RCV’s.

Kuliko ezifuuwa amazzi  ziweereddwa abakulira Ebitongole bya police ebyenjawulo okuli eky’ebikwekweto, ekikakanya obujagalalo n’okwekalasa ekya Anti – Riot police, abasirikale abali e Karamojja abalwanyisa obubbi bw’ebisolo ate endala ziwereddwa abasirikale ba police abakuuma emirembe e Somalia

Bw’ababadde abakwaasa emottoka zino omumyuka wa Ssabaddumizi wa Police mu ggwanga Maj Gen Tumusiime Katsigazi ategezezza nti emottoka zino eziguliddwa zigendereddwamu okulaga abantu ba bulijjo nti police netegefu okuttuukiriza obuvunanyizibwa bwayo obw’okubakuuma n’ebintu byabwe

AIGP Edyegu Richard akulira ekitongole Kya police ekigula ebintu ekya Logistics agambye nti balina ekigendererwa eky’okwongera okuwa abasirikale ba police amaanyi agakola emirimu gyabwe nga balina ebikozesebwa ebiri ku mutindo.

Related posts

MELBET TO SPONSOR BRIGHT STARS IN A MULTIMILLION PARTNERSHIP DEAL.

OUR REPORTER

Abasirikale ba police 5 e Bukedea basindikiddwa ku alimanda.

OUR REPORTER

Abavubuka abasangiddwa n’ebyuma by’amasannyalaze bagguddwaako gwa butujju.

OUR REPORTER

Leave a Comment