POLIISI e Mukono ekyagenda mu maaso n’okuyigga omuvubuka agambibwa okukakkana ku muganzi we n’amutta n’asibira omulambo mu nnyumba n’akubira abewaabwe bakime omufu.
Enock Wabembasa , y’anoonyezebwa ku bigambibwa nti yakidde muganzi we Fatuma Namboozo n’amuttira mu kazigo mwe babadde bapangisa mu zooni ya Nabuti Mukono .
Eyattiddwa ye Hajati Fatuma ow’e Bulijjo e Kyampisi nti Enock bwe yamaze okumutta, kigambibwa nti n’akubira abooluganda lwe n’abayita okukima omulambo gw’omwogezi.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga annyonnyodde nti yeeyambisizza ssimu y’omugenzi okukubira abantu be n’agattako nti y’abadde teyejjusa olw’ekikolwa ekyo.
Ate era poliisi eriko abasajja beekutte ku bigambibwa nti baasobezza ku baana okuli ow’emyezi 18 n’owemyaka Omusanvu e Ggulu ne Tororo.