15.6 C
Los Angeles
March 21, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Poliisi eggalidde omusumba agambibwa okutulugunya abaana.

Poliisi e Kawempe mu Kampala n’emiriraano eggalidde omusumba Robert Ssenfuma,emulanze kutulugunya baana abawala n’ekigendererwa ekyokubafunamu ensimbi.

Waliwo omwana Omuwala Nassande Tendo emyaka 10, yeyekubidde enduulu eri police nga yeemulugunya ku musumba, gwágamba nti abadde abakozesa emirimu gy’Okutunda obutambi okuli ennyimba z’ekkanisa yómusumba, kyokka nga bwebalemwa okufuna omutemwa gw’ensimbi zábeera ayagala ng’abakuba kibooko.

Omwana Nassande ono olulonkomye omusumba Robert eri police , ekikwekweto kikoleddwa mu makaage era abaana abalala mukaaga abato nebazuulwa mu maka ge nga bali mu mbeera mbi.

Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyisigire , ategeezezza nti bafunye obujulizi obuluma omusumba , nga kati waakuwerennemba n’emisango omuli okukukusa abaana n’emirala.

Related posts

Abakristaayo bakubiriziddwa okubeera n’enkolagana eri Katonda.

OUR REPORTER

Obwakabaka bukungubagidde Omuzira Nabakooza .

OUR REPORTER

Nnaabagereka atongozza ekisaakaate mu kibuga kya New Hampshire.

OUR REPORTER

Leave a Comment