11.9 C
Los Angeles
March 29, 2023
Image default
AmawulireFeatured

 POLIISI EGUDDE KU MULAMBO GWO MUWALA EYATTIDDWA NASUULIBWA MU KIBIRA

Poliisi e Mbale ezudde omulambo gw`omuwala agambibwa okuba nga yattiddwa nasuulibwa mu kibira e Busamaga mu Northern Division, abatuuze okuli Wonyaka Patrick ne Gudoi Zainabu bagamba nti mu kibira kino battirawo nnyo abantu, era oluusi bateegerawo aba bodaboda nebabajjako pikipiki, ekizibu kino bakitadde ku bavubuka abayitiridde okunywa ebilagalalagala ensangi zino. Omwogezi  wa poliisi mu bitundu bya Elgon Rogers Tayitika yagambye nti omulambo gwazuuliddwa mu kibira kino naye nga kiraga nti baasuddewo musuule nga balina gye basookedde okumuttira kubanga omulambo wegusangiddwa tewabadde wadde ensitaano. Tayitika yagambye nti omuwala eyttiddwa ateberezebwa okuba wakakti we myaaka 20-25, naye mu kiseera kino poliisi bakyanonyereza okulaba nga bazuula bannannyini, naye agamba nti kirabika yasoose kusobezebwaako oluvannyuma nattibwa, wabula yalabudde abantu okwewala ettamiiro n`okutambula amatumbi budde

Related posts

Minisita Nakadaama asabye  abantu bavumirire ebikolwa ebityoboola eddembe ly’abaana .

OUR REPORTER

Owek. Mayiga akunze abantu okunywa Kkaawa.

OUR REPORTER

Gavumenti  terina ssente zitambuza ggwanga, Minisita Kasaija.

OUR REPORTER

Leave a Comment